Eby'ettaka ly'e Namanve: Baleesi obujulizi obuluma omugagga Kirumira

Edward Luyimbazi
Journalist @Bukedde
May 05, 2024
OBUJULIZI obuleeteddwa mu kkooti   mu musango  gw’ettaka ly’e Namanve, omugagga w’omu Kampala era omubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ly’akaayanira  bulaga nti  omuntu gw’agamba okuggulako ekibanja yafa dda emyaka 21 emabega.
 
Omusango guno ogwatandika mu mwaka gwa 2021 era kati gwakamala emyaka egisoba mu 2 nga teguwulirwa nga kino kivudde ku Kirumira okubeera ng’abadde aggulawo emisango egy’enjawulo egikwatagana ku ttaka lino okuli gwe yawawaabira ofiisi y'eby’ettaka n'ekitongole kya NFA nga alinga agenderera okugulwisaawo.
 
Mu mwezi gwa October, 2021 kigambiwa nti Kirumira yagezaako okukola ekkubo ery’ekibanja kino kyokka nga yali aliyisa mu ttaka lya kkampuni ya Liberty ICD Ltd ekyabaleetera okuddukira ku poliisi. Era Kirumira bwe yayimirizibwa n'asalawo okutondawo ekibanja wadde ng’ekifo ekyo kyali kimanyiddwa ng’ekibangirizi kya bannamakolero. Kirowoozebwa nti embeera eno ye yavaako n’okutondawo block endala 561 mu ngeri y’okubuzaabuza olw'okwagala okuwamba plot 393 block 113.
 
ENDAGAANO N'OMUFU
 
Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti endagaano y'ekibanja kino Kirumira yagikola ne Galikwoleka Yokana Mukasa nga October,30,2017 kyokka okusinziira ku biwandiiko bya NIRA, Galikwoleka yali yafa nga July, 20,1996. Wano Liberty ICD we yeewuunyiza nti Kirumira yagula atya ekibanja ku muntu eyali yafa edda  n’akozesa n’ekinkumu kye!.
 
Andrew Mubiru

Andrew Mubiru

 
Poliisi bwe yekenneenya endagaano eno wamu n’ekinkumu baakizuula nga kyali kya Steven Muwange era ng’ono yagamba nti yali mukozi wa Kirumira era bwe yakunyizibwa yagamba nga ye n'abalala bwe bali ng’abajulizi ku ndagaano eno nga bwe baagikolera ku woteeri ya Jokas era nti tebaamanya wa ekibanja kino gye kyali naye nga baali bagikola ku biragiro bya Andrew Mubiru ku lwa Kirumira.
 
LIPOOTA YA POLIISI
 
Okusinziira ku lipooti ya poliisi (forensic report) eyakolerwa e Naggulu, ekibanja tekiraga nannyini ttaka, nsalo zaakyo, baliraanwa, obusuulu obuweebwa  mu mateeka wadde LC y'ekitundu okugimanyaako. Wano Liberty ICD w'egambira nti endagaano ya Consul Kirumira ne Mukasa erimu ebirumira. 
 
Okugezaako okuzuula ekituufu ekikwata ku kibanja kino poliisi yasalawo okwerula empenda zaakyo kyokka bwe yagezaako okukikola Kirumira yasalawo okuggula omusango ku baserikale baayo 4 nga kwaliko omumyuka w’omuduumizi wa poliisi aduumira poliisi ya Jinja Road, aduumira poliisi y'e Mukono n'akulira poliisi y'e Namanve.
 
Omusango  guno guli mu kkooti ejulirwamu era looya wa Kirumira, Francis Sebbowa  agamba nti Ssaabawolereza wa gavumenti talina buyinza okukkiriza abaserikale bano  nga kino kyava ku Mulamuzi David Matovu eyakkiriziganyizza n’omuwolereza wa gavumenti Mark Muwonge nti omusango guno  oguvunaanibwa bofiisa bano agumanyi era mwetegefu okuwolereza.
 
Looya Francis Ssebowa mu kkooti

Looya Francis Ssebowa mu kkooti

 
 
 
Nga eby’ekibanja kino birinnye enkandaggo, Mubiru yavaayo n'awaabira ba musigansimbi 17 mu Namanve Industrial Park nti ettaka lyebakolerako lya Namanve Central Forest Reserve, kyokka omulamuzi David Batema yali yasalawo dda nga ettaka n'ebyapa byonna mu kibangirizi kino biri mu mateeka nga gavumenti bwe yasalawo. 
 
Okusalawo ku musango guno kwa May 16, 2024 mumaaso g’omulamuzi Matovu e Mukono High Court.  
 
Mu musango guno Kirumira agamba nti yatwala ettaka lino oluvannyuma lw’ekitongole kya Capital Ventures international Limited (CVIL) abaali balivunaanyizibwako okulemwa okumusasula ssente obukadde 400 ze yali abawoze.
 
Kirumira era yategeeza nti ye nnannyini ttaka lino okumalira ddala emyaka 5 bw'atyo yawawaabira Karmali ne Uganda Investment Authority okusalimbirako mu bukyamu nga ayagala kkooti ebayimirize obutamusengula.
 
 
OFIISI YA DPP
 
Okunoonyereza kwa Poliisi ku misango gino kulaga nti waaliwo okusaalimbira n’okujingirira endagaano y'ekibanja. 
 
Era okunoonyereza okulala ne kulaga nti waaliwo okukumpanya omusolo gwa gavumenti mu kukyusa ekyapa ekiri ku poloti 393 block 113 okuva mu mannya ga CVIL okudda mu mannya ga Kirumira mu lukujjukujju nga akozesa looni okwewa ekyapa awatali biwandiiko bituufu n'asasula omusolo gwa ssente 1,255,000 mu kifo kya ssente obukadde 671.
 
OKWEMULUGUNYA
 
Wabula Liberty ICD yeewunyizza nti wadde omukungu mu ofiisi ya DPP Andrew Odiit n’ekitogole baali baasalawo okuggalira Kirumira olw’emisango egyo ate oluvanyuma omukungu omulala George Byansi yasazeewo okusazaamu ekiragiro akyo nti emisango egy’ogeddwako gya bulijjo egirina okusigala nga giwulirwa mu kkooti e Mukono...
 
Kirumira

Kirumira

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});