Omusajja avudde mu mbeera n'asalako muganzi we ensigo n'amutta e Kalangala

Samuel Nkuba
Journalist @Bukedde
Aug 19, 2022

Poliisi e Kalangala ekutte era ne ggalira omusajja amanyiddwa nga John Kajja ow’emyaka 42 ng'ono yakutte ekiso naasala abadde muganzi we ensingo n'amutta.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokuna ssaawa musanvu ez'ekiro ku mwalo gwe Misonzi ogusangibwa ku kizinga Lulamba mu ggombolola ye Bufumira.

Kigambibwa nti John yatebereza muganzi we Sarah Nandawula 38, okubaako n’omusajja omulala gwaganza ebbali era bweyabuziddwa olwo kwekwegaana n'ategeeza John nti yamukyawa era bawukane.

Omukyala eyattiddwa

Omukyala eyattiddwa

Kino kyaggye John mu mbeera n'akwata ekiso naasala Sarah ensingo era ono yagenze okutuusibwa mu ddwaliro lya Lulamba Health Center III nga zembuyaga ezikaza engoye.

Ono ye mukyala ow'okubiri okuttibwa mu bbanga  lya nnaku 9 zokka. Kinajukirwa nti mu mwalo gwegumu omwaka oguwedde era waliwo omukyala eyattibwa n'asuulibwa ku lubalama lwe nnyanja so nga ate waliwo omukyala ow'olubuto olw'emyezi omunaana eyaakattibwa mu bizinga emyezi ebiri emabega. 

Sentebe w’omwalo gwe Misonzi Luwukya Yuda Tadeo kino akitadde ku biragala lagala ebisusse, omwenge omunji ssaako n'ebbula ly'ensimbi ebifumbekedde mu bavubi. 

“Eyattiddwa yabadde anywedde kyokka n’omusajja yabadde mutamiivu. Wadde babadde balirwana bange sawulidde ku mulanga wadde enduulu,” Luwukya bwategezezza.

Omwami eyabadde azze okugula akawaragi okumpi awo ye yasanze John nga adduka n'atutemyako wabula twasanze omukazi ali mu kitaba kya musaayi.

Patrick Tumusiime Kansala we Bufumira asabye abatwaala ebyokwerinda okuteeka Poliisi ku kizinga kye Lulamba okusobola okukendeeza kubuzzi bwemisango obufumbekedde ku mwalo guno ogwe Misonzi. 

omusajja agambibwa okutta muganzi we

omusajja agambibwa okutta muganzi we

"Poliisi eri ku kizinga kya Buwuvu kyokka okutuuka wano balina kukozesa lyaato. Kino kikifuula kizibu okwanganga obuzibu singa buba bugudde wano e Misonzi oba e Kaaya," Tumusiime bwayongeddeko. 

Amaka awaakoleddwa ettemu

Amaka awaakoleddwa ettemu

Omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka Salongo Muhammad Nsubuga akakasiza okukwatibwa kwa John Kajja atemera emabega wemitayimbwa ku Kalangala Central Police Station nategeeza nti alindiridde kutwalibwa mu mbuga zamateeka avunanibwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});