Obukadde 500 eza Pulezidenti zitabudde bankuba kyeyo
Jul 02, 2023
OBUKULEMBEZE bwa Bannayuganda mu Amerika buguddemu nnabe, abakulira ekibiina mwe begattira ekya Ugandan North American Association ( UNAA), bwe babalumirizza okwezibika n’okukozesa obubi ssente pulezidenti Museveni ze yabawa okuyamba kunzirukanya y’emirimu mu kibiina kino.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Bya Jaliat Namuwaya
OBUKULEMBEZE bwa Bannayuganda mu Amerika buguddemu nnabe, abakulira ekibiina mwe begattira ekya Ugandan North American Association ( UNAA), bwe babalumirizza okwezibika n’okukozesa obubi ssente pulezidenti Museveni ze yabawa okuyamba kunzirukanya y’emirimu mu kibiina kino.
Ssente ezoogerwako ziri obukadde 549 nga Pulezidenti yaziwaayo ku lw’ekibiina kya NRM kyokka ne zibulankanyizibwa era balumiriza omu ku baminisita n’omuyambi wa Pulezidenti (amannya gasirikiddwa).
Okwemulugunya ku nsaasaanya n’enkozesa ya ssente zino kujjidde mu kiseera ng’ebbugumu lyeyongedde mu kunoonya akalulu k’obukulembeze obuggya obw’ekibiina, okugenda mu maaso.
Kigambibwa nti ssente ezo obukadde 549, Pulezidenti yazitikka Minisita n’omuyambi ziyambe ku kibiina kya UNAA era nga zino zaakwasibwa abaddukanya ekibiina kino mu September 2022 mu lukuhhaana lw’e San Francisco.
“ Kyannaku nti ssente zino zabbibwa obukulembeze obuliko kati obukulirwa pulezidenti Henrietta Wamala nga okusinga baazeeyambisa okutegeka obubaga,” abavuddeyo okwekubira enduulu bwe balumiriza.
Muvawala
Wabula akulira ekibiina kya UNAA, Henrietta Wamala yeegaanyi ebikwatagana ku ssente zino obukadde 549 n’ategeeza nti tebazifunanga n’asaba yenna alina obujulizi nti baabulankanya ssente zino abuggyeyo abalumirize.
Yannyonnyodde nti ssente ze bamanyi ziri obukadde 353 nga zino bazifuna okuva mu maka g’Obwapulezidenti buli mwaka era nga ziyitira mu kitebe kya Uganda mu Amerika e Washington DC . USA, Canada ne Mexico.
Wabula abawakanya balemedeko bwe bategeezezza nti enzirukanya ya UNAA erimu emivuyo mingi okusingira ddala egyekuusa ku nkozesa embi eya ssente.
“ Ffe abamu ekibiina kino tugenda kutuuka okukyesonyiwa buli ajja mu bukulembeze abala kimu kubba na kugenda, emivuyo mingi,” Charles Muvawala okuva e Boston bwe yeekokkodde.
Bammemba abalala beemulugunyizza ku ssente gye zaalaga ezaali ez’okutegeka olukuhhaana ggaggadde mu San Francisco mu 2020 olwataataaganyizibwa ekirwadde kya COVID-19 ne lukolebwa ku mutimbagano mu nkola eya zoom sso ng’ate era n’abalala balumiriza nti ekibiina kimaze ebbanga nga tekisasula misolo.
Ekibiina kino kirimu bammemba abasoba mu 120,000 era nga kirina bajeti etambulira wakati wa doola emitwalo 20 ne 40 buli mwaka.
Obukulembeze bwa UNAA obupya bwakulondebwa nga September 3, 2023 mu lukuhhaana olugenda okubeera e Dallas.
No Comment