Abakulembeze mututaase ku kasasiro - ab'e Kiboga

Oct 05, 2021

Abatuuze ba Kiboga Town Council esangibwa mu disitulikiti y'e Kiboga balaajanidde abakulembeze ba Town Council okubayoolera kasasiro asusse mu kitundu kyabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Gerald Senkoomi

Abatuuze ba Kiboga Town Council esangibwa mu disitulikiti y'e Kiboga balaajanidde abakulembeze ba Town Council okubayoolera kasasiro asusse mu kitundu kyabwe.

Bagamba nti ebifo ng'ebikuubo, obutale, ku nguudo n'awalala wajjudde kasasiro kyokka abakulembeze balemereddwa okubayamba okumuyoola ng'ate enkuba etonnya ekiyinza okubaleetera endwadde eziva ku bucaafu.

Bategeezezza nti abakulembeze mu kifo ky'okubayamba okubaggyirawo kasasiro n'okubakolera ebintu eby'enkulaakulana bali mu kulwanagana na bakozi ba Gavumenti ekivuddeko emirimu gya Council okuzing'ama era ne gitakolebwa.

“Ffe twagala nkulaakulana mu kitundu kyaffe so si bucaafu, tufa kasasiro asusse, ebimotoka ebyandibadde bimuyoola biyita kolaansi w'ayita wokka kyokka mu bikuubo tebayitayo kasasiro n'atuwunyirira,” omu ku batuuzebwe yannyonnyodde.

Okusinziira ku Julius Ntambi omutuuze mu Town Council eno yategeezezza nti balina n'obuzibu bw'enguudo embi mu town council ng'ate babasolooza omusolo mungi.

Henry Kagali, ssentebe wa Kiboga Town council yategeezezza ekitundu tekirina kifo we bayiwa kasasiro nga we baali bayiwa kasasiro ekifo tekyali kya Town council era n'omusango guli mu kkooti nnannyini kifo Hajji Hamimu Ssentongo yabawawaabira okukozesa ekifo mu bumenyi bw'amateeka.

Yayongeddeko nti Kiboga Town Council terina ofiisi ya Ssentebe nga ne ofiisi ya Town Clerk yayokebwa mu 2017 nga n'okutuusa kati tezzibwangawo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});