Amawulire

Bawadde obujulizi obujulizi ku bya Kirabo okutemula eyali muganzi we

Abaserikale abalala basatu be baleeteddwa okuwa obujulizi ku kkooti enkulu ey’emukono, mu musango gw’omuwala eyali owa yunivasite Desire Mirembe, agambibwa okuttibwa eyali muganzi we Mathew Kirabo mu 2015 omulambo ne guzuulibwa mu ssamba ly’ebikajjo e Lugazi.

Omuwawaabirwa Mathew Kirabo ng'ali mu kkooti
By: Joanita Nakatte, Journalist @New Vision

Mu  maaso g’omulamuzi Henry Kaweesi, omuserikale Dominic Manyi yasinzidde mu kaguli mwe yaweeredde obujulizi n’awuniikiriza ababadde mu kkooti bwe yategeezezza nti oluvannyuma lwa Kirabo okukwatibwa, ono yatwala abaserikale mu kifo we baasing'aana omulambo era n’abatottolera n’engeri omugenzi gye yatuuka okufa.

Yannyonnyodde nti Kirabo yabategeeza nti oluvanyuma lw'okufuna obutakkaanya n’omugenzi, yamukima mu mmotoka ye okuva ku Hostel e Wandegeya we yali asula, n’abaako w’amutwala okugonjoola obuzibu bwabwe kyokka ne balemagana okukkaanya.

Desire Mirembe Eyattibwa Nga Bwe Yali Afaanana.

Desire Mirembe Eyattibwa Nga Bwe Yali Afaanana.

Desire Mirembe eyattibwa nga bwe yali afaanana.

Ayongeddeko nga bwe baakwata ekkubo ne boolekera e Bugiri kyokka ne babaako we bayimirira ku kyalo Bulyantete mu bikajjo ( ewasingaanibwa omulambo) ne bafuluma emmotoka era nti oluvannyuma  lw’okumala ebbanga nga bayomba, omugenzi yasaba Kirabo amukkirize abeeko ebigambo by'amugamba ebisembayo era ng'olwamaliriza yabala okuva kw'emu okutuuka ku ssatu n’aggyayo akambe akakozesebwa mu ddwaliro okulongoosa abantu (Surgical Blade) n’akeesala ku bulago.

Abaabadde Mu Kooti Nga Beetegererza Akatambi Ka Kirabo We Yali Awa Sitatimenti Ye Ku By'okutta Mirembe.

Abaabadde Mu Kooti Nga Beetegererza Akatambi Ka Kirabo We Yali Awa Sitatimenti Ye Ku By'okutta Mirembe.

Abaabadde mu kkooti nga beetegereza akatambi ka Kirabo

Omuserikale Manyi ayongedde okuwuniikiriza kkooti bw’ategeezezza nti Kirabo yabannyonnyola nti mu kiseera ekyo naye yamuyambako okwesala era n’amutunuulira ng’assa omukka gwe ogwenkomerero era oluvannyuma bw'atyo n’akulula omulambo gw’omugenzi n’agukweka mu bikajjo olwo n’asooka atuula ku mabbali g’ekkubo mu kiro ekyo okumala essaawa nga bbiri ng’afumiitiriza ku kye yali akoze.

Wakati mu butambi bw’obujulizi obw’enjawulo obuleeteddwa era obulagiddwa mu kooti, puliida w’omuwawaabirwa Charles Opwonya Dalton agezezzaako okubuwakanya, n’ategeeza ng’omuntu we bwe baamukaka obukasi okwogera atyo.

Omuserikale Manyi Dominic Bwe Yabadde Ng'awa Obujulizi Bwe.

Omuserikale Manyi Dominic Bwe Yabadde Ng'awa Obujulizi Bwe.

Omuserikale wa Poliisi Dominic Manyi ng'awa obujulizi ku Kirabo

Bbo abooluganda lw’omugenzi abaabadde bakulembeddwa Kitaawe Emanuel Musoke baategeezezza nga bwe bali abamativu nti obujulizi obuleeteddwa era obukyaleetebwa mu kkooti bujja kumalira ddala okuweesa omuntu waabwe obwenkanya. 

Ye omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Frank Gashumba aliko by’annyonnyodde ku musango guno n’ategeeza nga bwe baategeddeko nti Kirabo ali mu nteekateeka eziwasa kyokka ng’akyawerennemba n’emisango egy’okutta eyali muganzi we, ekintu ekitali kyabwenkanya.

Tags: