Bakka Male owa King's College Budo aziikibwa Lwakutaano

Nov 11, 2021

Abadde akulira essomero lya King's College Budo, Patrick Bakka Male, aziikibwa nkya ku Lwokutaano ku kyalo Luwunga mu disitulikiti y'e Mpigi, ku luguudo lw'e Masaka.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Vivien Nakitende

Abadde akulira essomero lya King's College Budo, Patrick Bakka Male, aziikibwa nkya ku Lwokutaano ku kyalo Luwunga mu disitulikiti y'e Mpigi, ku luguudo lw'e Masaka.

Bakka Male yafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ku makya g'Olwokusatu, oluvannyuma lw'okumala ebbanga ng'atawaanyizibwa obulwadde bwa Puleesa n'okusannyalala.

Leero wabaddewo okusabira omwoyo gw'omugenzi ku Lutikko e Namirembe , abooluganda n'emikwano, bannabyanjigiriza ne bannaddiimi nga beebaza Katonda olw'emirimu gy'asobodde okumukozesa mu byenjigiriza n'eddiini.

Oluvannyuma omubiri gwe gutwaliddwa mu makaage e Budo abooluganda okugukubako eriiso evvannyuma.

Bakka Male abadde omukulu w'essomero lya King's College Budo okumala emyaka 13 okuva mu 2008, bannabyanjigiriza bangi bamutenderezza okuba omusajja ayagala omulimu gwe era ayagala okutendeka omwana w'eggwanga nti era alese atendese bannabyanjigiriza bangi.

Babakka Male Lwe Baajaguza Emyaka 25 Mu Bufumbo Obutukuvu Mu September Wa 2013.

Babakka Male Lwe Baajaguza Emyaka 25 Mu Bufumbo Obutukuvu Mu September Wa 2013.

Omugenzi Bakka Male Ku Ddyo Bwe Yali Ne Katikkiro Charles Peter Mayiga Ng'agenzeeyo Okutikkula Ettoffaali Mu 2015.

Omugenzi Bakka Male Ku Ddyo Bwe Yali Ne Katikkiro Charles Peter Mayiga Ng'agenzeeyo Okutikkula Ettoffaali Mu 2015.

Maama Nabagereka Wakati Ne Babakka.

Maama Nabagereka Wakati Ne Babakka.

Y'akulirako Mengo SS ne Muntuyera High School. Abadde muweereza mu bifo eby'enjawulo mu kkanisa ya Uganda.

Abadde yeesunze okuwaayo ofiisi ye mu kitiibwa.

Wilson Nsubuga eyaliko omumyuka we e Budo agamba nti, Bakka Male yaayagala nnyo okuwaayo ofiisi ye mu butongole eri anamuddira mu bigere mu kitiibwa, ng'ayagala okuteekawo omukolo oguliko abayizi n'abazadde, abanjulire omuntu omupya amuddidde mu bigere n'okubalaga by'alese akoze mu ssomero ebbanga ly'amazeewo, era ng'ayagala omukolo ogwo gubeewo mwaka gujja ng'abayizi bakomyewo okusoma, wabula tekisobose.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});