Bugingo yeegaanye okwanjulwa Makula
Dec 27, 2021
PAASITA Aloysius Bugingo agambye tayanjulwangako Suzan Makula wadde okukola omukolo gwonna ogw’obufumbo ne Makula.Wabula yayitibwa famire ya Makula okubakyalira nga December 7, ne basanyuka mu mukwano ne mikwano gyabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
PAASITA Aloysius Bugingo agambye tayanjulwangako Suzan Makula wadde okukola omukolo gwonna ogw’obufumbo ne Makula.
Wabula yayitibwa famire ya Makula okubakyalira nga December 7, ne basanyuka mu mukwano ne mikwano gyabwe.
Okwo tekwali kwanjula era tegwali mukolo gwa kukakasa bufombo bwe ne Makula.
Nga December 7, Bugingo yakoze omukolo ogwayitiddwa okwanjulwa mu bazadde ba
Makula ogwabadde e Kawuku ku lw’e Ntebe. Kaadi kwe baayitidde abagenyi baaguyise mukolo gwa kwanjula (Traditional marriage). Teddy Naluswa, muka Buigingo ow’empeta yawaabye omusango ku poliisi e Kawempe (reference number GEF
84/2021) nga December 9, ng’avunaana Bugingo okuwasa omukazi omulala Makula ng’ate obufumbo bwabwe (Bugingo ne Teddy) tebusazibwangamu. Bukyaliwo.
Nga December 22, Bugingo yakoze sitetimenti ku poliisi n’agamba nti tewabangawo
kikolwa kya kwanjula oba okutongoza obufumbo ne Makula. “Nnayitibwa famire ya Makula ng’omugenyi ku mukolo. Saagendayo kwanjulwa,” bwe yategeezezza
No Comment