NAMUNGI w'omuntu yeeyiye mu kibuga Kampala okugula ebintu by'abayizi abaddayo okusoma ku bbalaza nga 10 omwezi guno nga gavumenti bweyakisalawo.

Sik 2(2)
Kyokka yadde gavumenti yalagira abayizi okuddayo olunaku lw'enkya,waliwo abazadde n'abayizi abalabiddwaako mu kibuga ne muppaaka za takisi nga bazzaayo abaana ku masomero okwewala akavuyo akagenda okubeerayo olunaku lwenkya.
Sik 6(2)
Yo mu kikuubo nasiisi w'omuntu ayongera okuyiikayo buli ssaawa era abantunda ebikozesa ku masomero bali ku mugano nga gwa nswa,anti amaduuka gaabwe ga bemberedde abayizi n'abazadde okusobola okufuna ebyo byebetaaga omuli ebitabo,ekkalamu ne peeni,ensawo,enjeyo,amabaafu,sabbuuni n'ebirala.

Sik 8(1)