ABATUUZE mu ggombolola y’e Ddwaniro mu disitulikiti y’e Rakai balaajanidde Pulezidenti Museveni okuyamba ku kibbattaka ekisusse mu kitundu kyabwe.
Bano balumiriza abamu ku bannaddiini okwekobaana n’abagagga ne batunda ettaka. Abantu abasoba mu 2,000 nga bakulebeddwamu eyali Ssentebe w’Eggombolola y’e Ddwaniro, Zziwa Charlse bagamba nti emyaka gye bamaze ku ttaka lino bakimanyi nti lya Gavumenti era nga tebalina buzibu bwonna nga ab’Ebibanja nti kyokka mu kiseera kino waliwo abamu ku Bannaddiini abatandise okuliguza abagagga ekibeeraliikirizza.
Abatuuze bagamba nti ebintu byabwe bingi ebiri ku ttaka lino ebyolekedde okutwalibwa omuli, amayumba, amasomero, amasundiro g’amafuta n’ebirala bingi. Balaajanira Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zino nabo bafune obwenkanya nga Bannayuganda.
Mu ngeri yeemu n’Abakristu mu kisomesa kya St. Bruno Sserunkuuma Ddwaniro nga bakukembeddwa Ssaabakristu waabwe Emmanuel Lubega Kisaakye nabo bakaaba nga bagamba nti n’ettaka okutudde Klezia yaabwe empya gye bazimba nalyo beesomye okulitwala ne balaajanira Pulezidenti kubanga nayo yandimenyebwa.
Zziwa Charlse, yasabye Pulezidenti Museveni okusindika abakulu mu minisitule y’ebyettaka bagende e Rakai baddemu bapime ettaka lya Gavumenti lyonna n’abatuuze abalinako ebibanja byabwe nabo bayambibwe kubanga bali mu kweraliikirira.