SSAABALABIRIZI Kaziimba Mugalu yennyamidde olw'abantu abafumbo abayingira ggeeti bombi kyokka nga mu nnyumba baayawula dda ebisenge.
Ssaabalabirizi okwogera bino abadde akulembereddemu okusaba e Nkizi mu bulabirizi bwe Nyakatare.
Ssaabalabirizi akubirizza abantu okusonyiwagana n'okwekuba mu mutima kubanga yengeri yokka gyebasobola okuwangaaza obufumbo ssaako n'okukolagana n'abantu