Emirambo 5 egy’abagudde mu nnyanja bakkirizza giziikibwe ; ogumu gukyabuze!

ABANTU bakulumuse okweyiwa ku mwalo e Kiyindi okulaba nga bannyulula emirambo gy’abantu abataano ku mukaaga abaagwa mu nnyanja ku Ssande ekiro.

Emirambo 5 egy’abagudde mu nnyanja bakkirizza giziikibwe ; ogumu gukyabuze!
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Amawulire

Wadde mu kusooka baabadde bagambye nti bagenda kukuuma emirambo gino mu nnyanja ku lubalama okutuuka ng’emirambo gyonna gizuuliddwa naye wabaddewo okukkaanya gino gitwalibwe giziikibwe.

Abamu ku batuuze abakung'aanye okulaba ekigenda mu maaso.

Abamu ku batuuze abakung'aanye okulaba ekigenda mu maaso.

Okusinziira ku kkansala Amiri Kiggundu, akiikirira omuluka gw’e Kiyindi ku tawuni kkanso y’e Kiyindi, emirambo gye baazuddeko ne bagiwa ab’enganda okutwalibwa giziikibwe kuliko ogwa: Deo Mutebi, Geoffrey Kumutya, Vincent Muwanika 29, Fred Walwasa ne Godfrey Mabeya 15. Ggwo ogwa William Twizukye amanyiddwa nga Kanyankole n’okutuusa olwaleero gukyabuze.

Emirambo lwe baaginnyulula mu mazzi.

Emirambo lwe baaginnyulula mu mazzi.

Kinajjukirwa nti bano baagwa mu nnyanja ku Ssande akawungeezi wakati w’essaawa emu kitundu n’ebbiri (1:30-2:00) ez’ekiro bwe baali bava ku mwalo e Kiyindi nga batwala ebizimbisibwa omuli omusenyu n’amayinja ag’enkokoto wabula eryato lye baali batisse akabindo ne liremererwa ne libadima mu nnyanja awo nga mu bitundu by’e Mpuuga mu bizinga by’e Buvuma. 

Abamu ku bamulekwa ne jjajja waabwe.

Abamu ku bamulekwa ne jjajja waabwe.

Omubaka wa palamenti omukyala akiikirira disitulikiti y’e Buikwe era minisita omubeezi mu ofiisi y’omumyuka wa pulezidenti, Diana Mutasingwa asoose kutuuka ku mwalo n’akubagiza abantu n’abawa n’ensimbi emitwalo 50 zibayambeko mu nteekateeka z’okuziika n’okunoonya omulambo ogukyasigaddeyo.

Abavubi nga bazinga emirambo gy'abagenzi.

Abavubi nga bazinga emirambo gy'abagenzi.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu naye asangiddwa ku mwalo e Kiyindi ng’ono awaddeyo n’emmotokaye eya gavumenti eya ‘pick-up’ ng’era y’evuze omulambo gwa Godfrey Kumutya okugutwala ku butaka gy’azaalwa ku kyalo Namagabi B mu disitulikiti y’e Kayunga okuziikibwa.

Omugenzi Mutebi.

Omugenzi Mutebi.

Ddungu agambye nti nga disitulikiti eri wakati mu nnyanja basanga obuzibu okutambuza ebizimbisibwa kuba babijja ku lukalu nga y’ensonga lwaki ne bano abaabadde basaabaza omusenyu n’amayinja ebizimba pulojekiti y’amazzi byabaviiriddeko okubbira mu nnyanja ne bafa.

Kanyankole gwe bagamba akyabuze.

Kanyankole gwe bagamba akyabuze.

Asaasidde ab’enganda z’abagenzi n’asaba gavumenti okudduukiriranga emiranga gy’abantu mu kiseera ekizibu nga kino.

Omukadde Norah Nabatanzi, maama wa Kumutya alabiddwako ng’ayaziirana n’abamu ku bazzukulu be mutabani we be yamulekedde n’agamba nti bamulekwa bali 7 ate nga si ba mukazi omu so nga naye talina wadde obuyambi kuba ne jajja waabwe omusajja yafa dda naye aliwo ku bwa nnamunigina.

Omugenzi Kumutya.

Omugenzi Kumutya.

Latifa Namakula, mukyala wa Vincent Muwanika nga batuuze b’e Katooke mu Kampala omu ku bavubuka ababiri abalokole abaafiiridde kabenje kano ne muganda we Geoffrey Maveya annyonnyodde nti basooka ku kkanisa ya Inner Healing e Kisammula nga bwe baavudde eno kwe kwessa mu ddene boolekere mu bizinga, eby’ennaku ne batasobola kutuuka.

Namakula agamba nti yazzeemu okukuba ku ssimu zaabwe olweggulo nga teziyitamu n’akubira n’ab’omu bizinga gye baabadde bagenze alabe oba baatuuse naye nga bamugamba tebannabalabako. Ono bba Muwanika amulekedde abaana babiri okuli ow’emyaka 3 n’omwaka ogumu.

Abatuuze bavumiridde abakulembeze baabwe olw’obutafaayo kubadduukirira nga bagudde mu buzibu nga buno.