Minisita w’emirimu n’entambula, Gen. Katumba Wamala y’awadde ekiragiro kino. Awandiikidde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola n’amulaga obulabe obuli mu mmotoka ezitalina lukusa kusaabaza bantu n'akabi ke ziyinza okutuusa ku basaabaze.
Mu bbaluwa gye yawandiise nga April 05 2022, n'awaako kkopi Minisita atwala ensonga z’omunda, owa Kampala Metropolitan, Town clerk atwala Ntebe ne ofiisi ezenjawulo , yalaze nti mmotoka zino zaabulabe.
“Emmotoka nzibu okuzuula nga waliwo ensobi ekoleddwa, baddereeva baazo tebamanyiddwa ate bazibu okuzula singa wabeerawo obumenyi bw’amateeka nga okuwamba abantu n’obubbi,” ebbaluwa bwe yalaze.
Yanokoddeyo nti enguudo zonna kumpi kati ziriko mmotoka ezeekika kino naddala oluguudo lw’e Ntebe nti siteegi bazifudde za tteeka naddala ku kitebe ky’eggaali y’omukka, okumpi n’ekizimbe kya Conrad ku lugenda e Ntebe ssaako ku nguudo ezenjawulo.
Gen. Katumba yategeezezza nti mmotoka zino zeeyongedde nnyo ku nguudo bannannyini zo ne beerabira nti omulimu gw’okukola takkisi gulina amateeka agagufuga. Nti baddereeva abagukola mu mateeka batandise okukaluubirizibwa mmotoka zino ng’abamu ku basaabaze tebakyayagala kulinya takisi zikola mu mateeka nga zisasudde emisolo gya Gavumenti.
Yalaze nti amateeka agafuga ebidduka galagira takisi etambuza abasaabaze okubeeramu ekiba wakati ate nga kumpi ne mu maaso mulimu ennukuta eya T ate nga waggulu kuliko ekitaala ekyaka ekiro okwanguyiza abasaabaze okumanya nti eyo takisi.
Ebbaluwa yalaze nti n’ezimu ku mmotoka za takisi zirimu ebiba ebitakkirizibwa ate endala byasiwuuka nti byonna bateekwa okubitereeza.
Kino kijjidde ng'ennaku enkulu eza Ppaasika zisembedde abattakisi nga baagala kutandika kwongeza bisale ekimu ku biwaliriza abasaabaze okulinnya mmotoka z’obwannannyini ezigambibwa nti teziseera ate nga ziri mu mbeera nnungi.
EBIRAGIRO;
KCCA;
Mu kiseera ky’ekimu , KCCA nayo eragidde takisi zonna ezibadde zikyalemedde ku nguudo nga zifuddewo siteegi nazo ziveewo.
Dayirekita wa KCCA, Dorothy Kisaka ye yawadde ekiragiro nti abaserikale abakwasisa amateeka baziggyeko ku nguudo.
Ebiragiro byaniriziddwa abakulembeze ba takisi abeegattira mu kibiina kya Uganda Taxi Operators Federation [UTOF] .
Omumyuuka wa ssentebe Mustafa Mayambala yategeezezza nti omulimu gw’entambula guteekwa okukolebwa mu mateeka ng’abatalina lukusa lubakkiriza babiveeko .
Kyokka abamu ku basaabaze abakozesa mmotoka zino bawadde ensonga nti takisi ziseera nnyo ate ezimu ziri mu mbeera mbi ate abamu ku bavuga mmotoka ezo mikwano gyabwe abatasobola kubayitako ku makubo ne basalawo okubatwalako.