Bannange mututaase, ekyeya kikazizza enzizi zonna mu disitukiti y’e Lwengo

Jul 21, 2022

Abatuuze okuva mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Lwengo balaajana olwa ppereketya w’omusana eyeememula. Omusana guno gukazizza enzizi zaabwe zonna n’ebirime nga kati boolekedde enjala ani amuwadde akatebe.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Richard Kyanjo 

Abatuuze okuva mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Lwengo balaajana olwa ppereketya w’omusana eyeememula. Omusana guno gukazizza enzizi zaabwe zonna n’ebirime nga kati boolekedde enjala ani amuwadde akatebe.

Abatuuze abasinze okukosebwa bali mu magombolola okuli: Ndagwe, Lwengo Rural, Kyazanga, Malongo nga bano omusana gubookedde emyezi ebiri n’okusoba ne gukaza ebijanjaalo, kasooli, omuddo gw’ente n’enzizi.

Ibrahim Ssemuddu alina ente, embuzi n’endiga ebisoba mu 300 ku kyalo Jjaga mu ggombolola y’e Lwengo Rural yategeezezza nti ekyeya kino kimukosezza nnyo kubanga buli lunaku yeetaaga liita 4000 okubeezaawo ebisolo bye kyokka ekiseera wasinga okugeetaagira enzizi zikalidde.

''Bw’oba amazzi gano ogaguze, ekidomola bakitunda wakati wa 1,000/- ne 1,500/- olw’amafuta ageekanamye kyokka ng’ente tezikyavaamu mata bulungi olw’okulya obubi,'' bw'ategeezezza.

Bruno Kisekka akulira essomero lya Alpha and Omega e Kawuniro agamba nti ab’essomero baasalawo abayizi okujjanga n’amazzi mu budomola buli ku makya okuwewula ku ssomero kyokka era ssente zikyagenda nnyingi ku mazzi.  

Abavuzi ba boodabooda bali ku mugano

Abavuzi ba boodabooda mu disitulikiti eno eby'okuvuga abantu baabivaako dda nga kati bakeera kusomba mazzi.

Vincent Birimuye, omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti yategeezezza nti olw’okuba ebitundu ebisinga tebirina nsulo z’amazzi, ebbanga lyonna babeerawo ku mazzi agalembekeddwa mu bidiba kyokka olw’okuba enkuba teyawera, ebidiba byonna byakala dda.  

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});