Byolina okwegendereza ng’oteekawo ttanka y’amazzi
Apr 07, 2025
MU kiseera kino ng’enkuba etandise okutonnya, bangi ku baazimba baafunye ekirowoozo ky’okugula ttanka y’amazzi baleme kudooba nnyo mu biseera by’ekyeya.

NewVision Reporter
@NewVision
MU kiseera kino ng’enkuba etandise okutonnya, bangi ku baazimba baafunye ekirowoozo ky’okugula ttanka y’amazzi baleme kudooba nnyo mu biseera by’ekyeya.
Abakugu bagamba nti okugula ttanka n’okugiteekayo byetaaga obukugu era bwomala gagiteekayo okyayinza okufuna obuzibu.
Fredrick Mubiru agamba nti ekimu ku bivaako ttanka okwabika kwe kuba nga terina kifo amazzi bwe gaba gabooze we gafulumira. Waggulu ku ttanka kulina okubeerako payipu oba ekituli omuyita amazzi okuyiika bwe gaba gajjudde. Waliwo ttanka ezikolebwa nga zirina ekifo awagenda amazzi agabooze (over flow space) ate waliwo n’ezitabeerako kifo kino.
Singa ogula ttanka nga teriiko kifo ekyo osobola okukozesa ow’amazzi n’ateekako omuwaatwa guno. Eno ebeera payipu entono gye bateeka ku ttanka waggulu okufulumya amazzi nga gajjudde nnyo mu ttanka naddala mu biseera by’enkuba ennyingi.
Ekirungi kya payipu eno ekirala eyamba ttanka okuyingiza empewo n’etayabika ng’ejjudde. Wansi wa ttanka walina okubeerawo ekifo awagenda taapu esumulula amazzi ne gayiika.
Ttanka olina okugyegendereza obutagiteeka mu kifo kifo kifunda nnyo w’otasobola kugizimbira mu mbeera nga n’ekidomola ky’amazzi tekituukawo bulungi.
Taapu erina kuyita wansi wa ttanka ne kyanguyiza abasena amazzi okugakima. Ttanka ne bwebeera ng’egenda kubeera wansi oba waggulu erina okubeera ng’ezimbiddwa omusinga omulungi kwetuula.
Omusingi bwe gubeera omulungi guyamba ttanka okutereera. Bwebeera ng’egenda kubeera waggulu osobola okweyambisa ebyuma oba okugizimbira.
Kyokka olina okumanya nti obugumu bw’ebyuma businziira ne ku buzito bwa ttanka gy’otaddeko kuba kyangu ttanka okusukkirira ebyuma obuzito.
Abakugu bagamba nti ekifo awagenda ttanka, wansi walina okuba nga waatereera bulungi kuba bwe wataba wasobola okuvaako ttanka okugwa oluusi n’okwabika. Ekifo bwe kibeeramu akaserengeto walina okusooka okutereezebwa bulungi n’ettaka ne wanyigibwa.
OBWETAAVU BWA TTANKA BUNGI
Ttanka ezitandikirwako ziva ku mitwalo 30 okutuuka ku bukadde okusinziira ku bungi bw’amazzi ge bapimira mu ttanka.
Kyokka ate waliwo n’agula ttanka enneneko ne batandika bizinensi y’okutunda amazzi eri bakasitoma. Okugeza ekidomola abamu bakitunda 300/- abalala 500/- era kibayambye okufuna ssente naddala ezirabirira awaka buli lunaku.
Ttanka za Pulasitiika abantu ze basinga okugula olw’okuba tezitalagga bwozigeraageranya n’ez’ebyuma. Ekirala ne bwe kubeera kugisengula kugitwala mu kifo kirala kibeera kyangu n’etafuna buzibu.
Kyokka enkizo y’ez’ebyuma kwe kubeera nga ziwangaala nnyo era si nnyangu za kutonnya obutafaanagana na za pulasitiiika. Tezisokosebwa mangu nkyukakyuka mu mbeera ya budde, wewaawo zitalagga ne zikyafuwaza amazzi.
No Comment