ABAMU ku Bannayuganda bannamukisa abaawonye ekkomera ne bakomezebwawo e Uganda balojja ennaku gye baayiseemu okuva lwe baabakwata.
Omu ku be twayogeddeko naye wabula nga teyayagadde kumwatuukiriza mannya, olugendo lw’e Dubai yalunyumizza bwati:
Mukama wange weebale kunsabira nnatuuse bulungi era ndi waka naye ng’emitendera gye nnayiseemu tegyabadde myangu. Omanyi okujja ne balondamu abantu 10... eh...
ng’erinnya lyange mweriri..!, naye omanyi bwe nnawulidde?
Ekyamazima buli kimu kyabaddemu omukisa ku ludda lwange. Kubanga nnayise mu kaseera akazibu nga nze ne bannange tetulina untu ayinza kutubeererawo mu
kaseera ako.
E Dubai twasimbuddeyo ku ssaawa 11 n’eddakiika 50, ne tutuuka ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa nnya n’ekitundu. Buli omu ayogera bibye ku nsonga z’e Dubai, naye ffe mu kkomera twavaayo 10, era okusooka twalina essuubi nti engeri gye basoose okukola ku ffe, buli kimu kyali kigenda kutambula bukwakku naye si bwe kyali.
Kubanga nnali mu abo 40 abaasooka naye weewuunye baatwalanga n’abatalina paasipooti ne balekawo ffe abaazirina.
Bano empapula zaabwe baazikolerako awo kyokka nga balondobamu balondobe oluvannyuma ne babaawula ku ffe.
Olwatuuse mu kkomera ly’e Al Awir, baatukebedde covid 19, ne batukuba n’ebifaananyi
n’okutuggyako endagabutonde.
Katonda alabirira abalungi n’ababi naye asookamu abo b’ayagala, naye nange mwebaza
olw’okumponya ekkomera.
Baatukyusa ne batutwala mu kkomera eddala, ffe abaali balowooza nti batutwala ku kisaawe kya nnyonyi batukomyewo e Uganda.
Ebirowoozo byatwesomba mu kaseera ako nga tetumanyi lwaki baali batwawudde ku bannaffe era olumu twalowooza oba ffe abaali basinga okukola effujjo mu kkomera ly’e Al Awir, gye baasooka okutusibira!
Banzigyako ebintu byange bye nnalina omwali n’ekikoofiira kyange ne bandekera akasumuluzo akaggulawo sseefu omwali essimu yange kokka.
Munda mwe twayingira nnasangamu abasibe abalala nga bava mu nsi za njawulo. Mwalimu Bannayuganda, Abapakisitani, Abanigeria, Bannakenya, n’abalala.
Bwe twakuukayo, Bannayuganda bannaffe ne batwaniriza naye nga wasooka kutya kubanga nze ng’omuntu gwe gwali omulundi gwange okusibwa mu kkomera.
Okuva lwe baatukyusiza ekkomera, buli kiro wakati wa ssaawa 8:00 ne 9:00 waliwo omuserikale eyajjanga n’atusoma amannya okulaba oba tewali atolose. Kyokka olunaku lumu, omuserikale yajja ku ssaawa 6:00 n’asoma amannya gaffe ga bantu 10, nga bwe twajja ne batufulumya wabweru. Twagenda okulaba nga batukebera ekirwadde kya ssennyiga omukambwe, bwe baamala ate ne batutwala mu kkomera eddala ne batuggyako emisipi, amasimu, n’ebirala.
Eno twatuukayo ku Lwakutaano, era twasangayo Bannayuganda abalala era omu ku bo n’atubuulira embeera y’ekkomera lino. Yatugamba nti baali babasiibya ku mpingu nga bazibasiba ku magulu ne ku mikono.” Yagambye nti kino kyayongera okubennyamiza kyokka baali bakyali awo, abamu ku bannaabwe ne batandika okuwandiika amannya
gaabwe ku kapapula ne bakawa omuserikale w’ekkomera nga bamulaajanira abayambe.
Abamu ku bawandiika baabatwala
ku kisaawe nga basibiddwa ku mpingu ng’era abasibe bwe babeera, kyokka bo lwe baabatwala tebaabasibaako kintu kyonna baabatwala nga bakungu. Yagambye nti enjala yabaluma n’edda ne mu kati ne yeewogoma kyokka olwatuuka ku kisaawe buli omu ne bamuwa capati ekika kya ‘Parata’.
Baddamu ne babaddiza essimu, n’ensawo zaabwe ne babatwala ku kisaawe ky’ennyonyi era kyabayamba ddereeva eyabatwala yalimu omusaayi gw’Ekifirika era yabayamba nnyo okutuusa lwe baabalinnyisa ennyonyi.
Yagambye nti teyakikkiriza kubanga bwe baatuuka ku nnyonyi baabawa ebyokulya enjala eyali ebula okubatta n’ewona.
Yagambye nti kizibu okumanya omuwendo gw’abannayuganda omutuufu ogwakakomezebwawo kubanga buli kibinja bakiyisa ku bisaawe byanjawulo.
Yagambye nti bannaabwe abakyali mu makomera bakyali bangi omuli abeewaayo n’abo be bakwata ku mpaka.
Yagambye nti abasajja n’abakazi buli kibinja bakyawulamu ebibinja bibiri; ekirimu abalina paasipooti n’abo abatalina.
Yagambye nti tebamanyi kyakuzzaako kubanga okuva kuno baasooka kwetundako bintu byabwe nga basuubira okubizzaawo nga bafunye ssente e Dubai kyokka baakomyewo ngalo nsa.
Ono yasabye Gavumenti ebateerewo enteekateeka ey’enjawulo nabo basobole okuganyulwa mu nteekateeka ya ssente z’oku miruka (PDM) ez’okwekulaakulanya ezigabibwa