KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awagidde Nnalulungi w'ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda, Sydney Nabulya Kavuma n'amugamba Kati amwagaza kuwangula Ngule y'ebyobulambuzi mu nsi yonna.
Mayiga agambye nti akokodyo k'obuwanguzi Kali kamu,okutuuka ku buwanguzi bw'ebintu ebinene olina kusooka kuwangula ebintu ebitono.

Nnalulungi Sydney Nabulya Kavuma
"Tosobola kuwangula kintu kinene nga tosobola kuwangula bintu bitono. Ekirungi watandikira ku kuwangula Obwannalulungi bwe Kyadondo,wuuyo Buganda ate n'owangula n'Obwannalulungi bwa Uganda Kati tewali kikulemesa kuwangula Ngule y'ensi yonna," Mayiga bwategezezza.
Bano basisinkanye Bulange-Mmengo olwaleero nga Nabulya awerekeddwako banne Roselin Nakato Namuyanja eyakwata eky'okubiri mu Buganda ne Genevieve Namakula okuva e Bugerere eyakwata eky'okusatu.
Nabulya yetegekera okugenda e Malaysia nga November 10,2022 okuvuganya mu mpaka z'Obwannalulungi w'ensi yonna ezinabeerawo nga November 25,2022.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
Victoria Kayaga Kiggundu nga y'akulira ekitongole ki Buganda Heritage and Tourism Board (BHTB) ategezezza nga Bannalulungi bano bwebongedde okutumbula eby'obulambuzi bya Buganda okuyita pulojekiti ez'enjawulo zebatandise okukola.
Ye Nabulya yebazizza Obwakabaka olw'okumuteekateeka n'agenda awangula engule ya Buganda era n'ategeeza nti ali mu kwetegeka okwenjawulo okulaba nga tagenda bugenzi Malaysia ng'omulambuzi wabula okuggyayo obuwnaguzi.
Desire Patience Ayona eyakwata eky'okubiri ku Bwannalulungi we Westnile saako ne Genevieve Nakoli nga ye Nnalulungi w'ebyobulambuzi e Karamoja n'abakungu abalala beetabye ku mukolo guno.