Omuduumizi wa poliisi agumizza ku byokwerinda mu Mbuutu y'Embuutikizi Bwaguuga
Nov 15, 2022
POLIISI ekakasizza okunyweza ebyokwerinda mu Mbuutu y'Embuutikizi Bwaguuga etegekeddwa Bukedde Fama ey'okubeera wakati mu luguudo lwa 1st Street mu Industrial Area mu Kampala ku Lwomukaaga luno.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya James Magala
POLIISI ekakasizza okunyweza ebyokwerinda mu Mbuutu y'Embuutikizi Bwaguuga etegekeddwa Bukedde Fama ey'okubeera wakati mu luguudo lwa 1st Street mu Industrial Area mu Kampala ku Lwomukaaga luno.
Mu nsisinkano abasirikale ba poliisi gye yabaaddemu n'abategesi b'Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga wano ku kitebe Kya Vision Group, Omuduumizi was poliisi Kampala n'emiriraano, Stephen Tanui mu bubaka bw' atisse ACP Anatoli Katungwensi akakasizza nti poliisi yafuna dda empapula zonna ezikwata ku ngeri Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga gy'etegekeddwamu.
Ono ategeezza nti baatandise dda okwetegeka okukuuma abantu abayitirivu abagenda okweyiwa mu Mbuutu y'Embuutikizi ku Lwomukaaga luno.
Katungwensi agambye nti engeri Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga gy'egenda okubeera mu luguudo lwa First Street wakati, enteekateeka zonna ziwedde.
Wakati Mu Ngoye Ezaabulijjo Ye Manaja Wa Bukedde Fama Yaweh Kabanda Ng’ Alambuza Abaserikale Oluguudo Lwa First Street Olugenda Okubeeramu Embuutu Y'embuutikizi Bwaguuga. Ku Kkono Ye Acp Anato
Agambye nti oluguudo olwo bajja kuluggala ekiseera ng'ekituufu kituuse okusoboze abadigize okunyumirwa Embuutu awatali kutataaganyizibwa kwonna n'akunga abantu okujja mu bungi kubanga byonna ebigetekeddwa bigoberedde amateeka.
Oluvannyuma poliisi ng' eri wamu n'abategesi b'Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga abaakulembeddwaamu akulira ebivvulu bya Kkampuni ya Vision Group, Phiona Tamale, balambudde oluguudo lwa First Street awagenda okubeera ekijjobi era Poliisi n'eyongera okukakasa nti ekifo kigazi bulungi abadigize okukyegazaanyizamu obulungi.
Maneja wa Bukedde FM Radio Embuutikizi, Herbert Yaweh Kabanda, asiimye poliisi olw'okuyingirawo amangu era n'akunga abawagizi ba Bukedde Fama okukeerako banyumirwe Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga wakati mu luguudo.
Kabanda asabye abeebidduka abasobola okufuna webabireka okukikola olw'obungi bw'abantu abasuubirwa okwetaba mu Mbuutu y'Embuutikizi, okwewala okutaataganyizibwa akalippagano.
Ku Kkono Ye Ssp Henry Kintu, Maneja Wa Bukedde Fm Herbert Kabanda Ate Akutte Ekitabo Ye Acp Katungwensi Nga Balambula Oluguudo Lwa First Street Olugenda Okubeera Entujjo Eno.
Ye Frank Kabushenga, eyakiikiridde akulira eby'okwerinda mu Kkampuni ya Vision Group yagambye nti beetegese bulungi okukolagana ne poliisi okulabanga Embuutu y'Embuutikizi etambula bulungi.
Wabula ye akulira ebivvulu bya Kkampuni ya Vision Group, Phiona Tamale agambye nti enteekateeka z'Embuutu y'Embuutikizi Bwaguuga ziri mu ggiya nti era bagoberedde amateeka gonna ag'ebyokwerinda ko n'okutangira okusaasana kwa Ebola n'akunga abadigize okukeerako banyumirwe.
No Comment