Gen. Kayihura akyalojja bwe yasibira mu kkomera

Apr 20, 2025

EYALI omuduumizi wa Poliisi, Munnamagye Gen. Kale Kayihura n’okutuusa katiakyalojja engeri gye baamukkakkanya ku bitiibwa bye yaliko  n’asibira mu kkomera.

NewVision Reporter
@NewVision

EYALI omuduumizi wa Poliisi, Munnamagye Gen. Kale Kayihura n’okutuusa kati
akyalojja engeri gye baamukkakkanya ku bitiibwa bye yaliko  n’asibira mu kkomera.
Gen. Kayuhira era akyewuunya abantu b’ensi eno bwe balina ettima  ne batuuka n’okumussaako n’okumuwaayiriza emisango gy’agamba nti, gyali mifumbirire,
n’agamba nti, yabakwasa Katonda oyo ali waggulu.
Bino Kayihura yabyogeredde mu mboozi ey’akafubo gye yabaddemu
e Munnamawulire wa Vision Group efulumya ne Bukedde eyamusanze mu makaage agasangibwa ku kyalo Katebe, mu ggombolola y’e Kasagama, mu disitulikiti
  ’e Lyantonde.
Mu mboozi eno, Kayihura yayogedde ne ku kusoomoozebwa kwe yasanga ng’akyaduumira Poliisi ya  Uganda n’engeri gy’atambuzaamu obulamu mu kiseera kino.
Yatubuulidde n’okusoomoozebwa kw’asanze mu  kukwata enkumbi, okuva lwe yava
mu mirimu gya gavumenti.
Kayihura yagambye nti, kyali kikangabwa kyennyini mu bulamu bwe, bwe baamukwata mu June wa 2018 ne bamuggulako emisango mu kkooti y’amagye era tayagala
na kubijjukira.
N’okutuusa olwaleero akyewunya amalindirizi ageenoonyeza ebyago, agaasalawo okumuteeka mu mbeera eno nga gajingiridde ebisangosango ebitaliimu wadde
empeke.
Ekyamutaasa agamba nti, y’enkola y’amateeka mu magye ga UPDF, eyeekenneenya n’ezuula nti, byonna byali bipange, n’emwejjeereza, era ne Pulezidenti  yatuuka n’amanya ekituufu.
Yagambye nti, ebintu bye yakola mu poliisi byali bingi, era we yaviirawo ng’eri mu mbeera nnungi okusinga we yagisangira. We yajjira  ku buduumizi bwayo, nti yasanga
terina bikozesebwa, abaserikale nga batono, nga n’endowooza yaabwe tetegeerekeka nga tebalina na ssuubi.
Olw’emirimu gye yakola, Kayihura agamba nti, we yaviirawo ebintu byali bikyuse, ng’obuzzi bw’emisango bukendedde, poliisi ng’erimu abaserikale abayivu, ate
 ng’ekolagana bulungi n’abantu ba bulijjo.
Ku ky’aboludda oluvuganya abalowooza nti, poliisi yagikozesa okuzannya ebyobufuzi,
n’okutulugunya abavuganya gavumenti yagambye nti, si kituufu kubanga ne bannabyabufuzi tebaali bangu. Eky’okulabirako, kiri nti, ng’obudde buyinza
okukya ne bakugamba nti, esigye ali mu kibuga wakati apaakinze ng’ayagala abantu
bamukung’aanireko asobole okukola obujagalalo. Okusiguukululawo  omuntu ng’oyo waali weetaagisaawoamaanyi ag’enjawulo, era abasuubuzi mu kibuga
nakati agamba nti, bakyamusiima olw’okubakuuma ne basobola okukola emirimu gyabwe.
Yayogedde n’engeri gye yasensera ab’oludda oluvuganya n’abagaaya ng’ebinyeebwa mpola mpola, n’alemesa enteekateeka zaabwe nga takubye ttiyaggaasi wadde okukuba essasi.
Yannyonnyodde nti, yakizuula ng’okugumbulula enkung’aana kikosa n’abantu abagoberera amateeka abatabiriimu, kwe kusalawo okwogerezeganya n’abavubuka
abaali bateekebwateekebwa okukola effujjo mu kibuga ne babivaako,
olwo Besigye ne Kyagulanyi ne basigala mu bbanga nga teri abagoberera.
Kino kyamuyambanga n’okufuna amawulire ku nteekateeka zaabwe ez’obulabe, n’azirinnyamu eggere nga tezinnabaawo, kubanga baali baagala bakole obujagalalo, poliisi bwevaayo okubagumbulula ekifaananyi yayo n’ekya gavumenti
kife mu nsi yonna.
Okuva lwe yava ku buduumizi bwa Poliisi, Kayihura agamba nti, yadda e Kashagama n’asima oluzzi n’atandika okulima n’okulunda era emmere ye ejja mu katale e Kampala,
ate ng’ayongera n’omutindo  ku mata, okuyita mu kukola amata aga bbongo ge yatuuma Katebe Yogurt.
Yalombozze okusoomoozebwa  okuli mu bulimi, omuli ekya bbanka obutawola balimi ssente ze baagala, kubanga ebbanga lye bagaba mw’osasulira looni liba ttono nnyo, ate ng’obulimi weetaaga ekiseera okutandika okufuna amagoba.
Yawadde eky’okulabirako, nti okutandika olusuku ne lukula  n’otandika okuyunjaamu enkota ezizitowa kkiro 30 -60 nga zisobola okugenda mu katale e Nakasero
oba mu Owino, weetaaga emyaka esatu, kyokka bbanka zaagala osasulire mu myezi mukaaga,  ekikalubya emirimu. Amasannyalaze agavaavaako nago yageekokkodde, n’agamba nti, akola amata ga bbongo, naye amasannyalaze amatono gabatawaanya
mu kitundu.
Obulamu bw’omu kyalo bwo okutwaliza awamu Kayihura agamba nti, bumunyumidde era tayagalira ddala kujja Kampala. Mu kyalo gy’ali waliyo empewo ennungi, era ku  yaka gye egy’obuwangaazi yandyongerako emirala 10 nga mulamu, olw’embeera ennungi gy’alimu.
Era muli awulira eddembe nga abantu banywa bbongo ne bamuwaana nti, mulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});