Omulamuzi Adams Byarugaba amugaanyi okubaako ne ky'ayogera nti omusango gwe gwa naggomola nga kkooti ye terina buyinza bu guwulira.

Masagazi mu kaguli ka kkooti.
Okusaba kwe kwonna yateegeezezza nti ateekwa kukuyisa mu kkooti Enkulu ewulira emisango egy'ekika nga kino era amusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga January 12, 2022 lw'anaddamu okumusomera.
Andrew Masagazi 19, omutuuze w'e Mengo mu munisipaali y'e Lubaga y'asomeddwa ogw'obuliisa maanyi nga tekikkirizibwa mu mateeka.
Kigambibwa nti nga August 31, 2022, mu bitundu by'e Lusaze mu Lubaga, Masagazi yeekakaatika ku mukazi (amannya gasirikiddwa) n'amukaka omukwano nga teyeeyagalidde ekyamuviirako okukosebwa.
Omuwaabi wa Gavumenti ategeezezza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n'asaba omulamuzi ayongezeeyo omusango okutuusa bw'alireeta obujulizi obusindika Masagazi mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n'ogwobuliisa maanyi.
Omulamuzi Byarugaba amusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga January 12 omwaka ogujja addemu okumusomera omusango.