Sudhir yeegasse ku Kalidinaali Wamala okujaguza emyaka 65 egy’Obusaseredooti

Dec 22, 2022

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ajaguzza emyaka 65 egy’obusaseredooti ne yeebaza abantu bonna abamulaze okwagala n’okufaayo mu lugendo luno.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Bya PONSIANO NSIMBI

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ajaguzza emyaka 65 egy’obusaseredooti ne yeebaza abantu bonna abamulaze okwagala n’okufaayo mu lugendo luno.

Ku kabaga kano, Kalidinaali Wamala yagambye nti ajjjukira bulungi bwe yali ng’akyali Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala, omugagga Sudhir yamulaga okwagala okufaayo n’okumuwa obuwagizi obwetaagisa nga mukwano gwe. Sudhir yeetabye ku kabaga kano.

Yateegeezezza nti okuva lwe yawummula, omukwano gwabwe agukuumye ng’amukyalira mu bbanga eggere nga bwe yamukyaliddeko mu maka ge e Nsambya.

Yamujjukiza nti tayinza kwerabira kijjulo kye yamugabula bwe yabakyaza ku mpaka z’amzato e Munyonyo n’abantu b’abeera nabo.

“Ku lunaku luno olw’enjawulo mu bulamu bwange nga njaguza emyaka 65, okuva lwe nafuuka omusaseredooti, ntwala omukisa guno mwenna okubaaniriza n’omutima gwange gwonna era mbaagaliza emikisa gya Katonda gibabeereko n’abomu maka gamwe n’abaagalwa baamwe bonna’’.

Omukisa guno Kalidinaali yaguwadde abagenyi abeetabye ku kabaga kano okwabadde Ssaabasumba Kasujja ne Dr. Emmanuel Kimboga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});