Amawulire

Ente ekwasizza omuvubuka e Matugga

ABATUUZE ku kyalo ky’e Lwadda B e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baliko omuvubuka gwe bakutte ng’alina ente egambibwa okuba enzibe.

Ku kkono omutuuze ng’ akutte ente agambibwa okubbibwa . Ate ku ddyo owapoliisi ng’ akutte Kirumira amutwala ku poliisi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Wasswa b. Ssentongo

ABATUUZE ku kyalo ky’e Lwadda B e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baliko omuvubuka gwe bakutte ng’alina ente egambibwa okuba enzibe.

Akwatiddwa ye Derick Kirumira 29, ng’ono baamukutte n’ente ng’ agyitwala mu bitundu by’e Kiryagonja.

Kigambibwa nti abatuuze abaakedde okugenda okukola be baamusanze kyokka bwe baatandise okumubuuza wa gyagitwala nga byayogera tebikwatagana.

Kino kyabatabudde ne bategeeza nga bw’ayinza okuba nga agibbye era kye bakoze kwe kumutwala ku ofiisi ya ssentebe w’ekyalo kino, Patrick Senkubuge.

Kirumira yagambye nga ye bw’akola ogw'okulunda ente ew'omutuuze ategeerekeseeko erya Kasule.

Oluvannyuma abatuuze baayise poliisi eyazze n’emutwala ku poliisi y’e Matugga nga okunoonyerezza bwekugenda mu maaso.

Amyuka ssentebe w’ekyalo kino, Rasto Bamenya yagambye ng’ abatuuze bwe beekengedde omusajja ono oluvannyuma ly'okubeera nga talina bimwogerako ate nga talina na kiwandiiko ekimukkirizza okutambuza ente nga yasabye abalina ente bwe baba nga bakuzitambuza babeere n’ebyogera ku ente ze batambuza.

 

Tags:
ente
emukwasizza