Amawulire

Poliisi ekutte difensi kagwensonyi eyajjudde ebitannajja n'atikka owa P7 olubuto

Poliisi e Kasangati ekutte difensi w’ekyalo eyatunuzza omwana owa P7 mu mbuga ya sitaani.

Poliisi ekutte difensi kagwensonyi eyajjudde ebitannajja n'atikka owa P7 olubuto
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

Poliisi e Kasangati ekutte difensi w’ekyalo eyatunuzza omuwala owa P7 (amannya gasirikiddwa) mu mbuga ya sitaani.

Omuwala gwe yafunyisizza olubuto.

Omuwala gwe yafunyisizza olubuto.

Omwana baagenze okumulaba nga olubuto luwezezza emyezi esatu! Lawrence Lusimbo, 45, akulira ebyokwerinda ku kyalo Kibibi Lukole ekisangibwa mu ggombolola y’e Busukuna disitulikiti y’e Nansana Munisipaali yakwatiddwa oluvannyuma lw'okufunyisa omuyizi w’essomero lya New Lwoga Memorial School olubuto.

Amannya g’omuyizi gasirikiddwa  kyokka wa myaka 14 gyokka ng’asoma ekibiina eky'omusanvu.

Lusimbo kagwensonyi eyasobezza Ku Muwala We

Lusimbo kagwensonyi eyasobezza Ku Muwala We

Omwana ono yategeezezza nti Lusimbo azze nga amukozesa era omulundi ogwasooka yafuna olubuto kyokka n’alumuggyisaamu era  abasomesa be baamukebera.

Omuwala ono yagambye nti ssinga azaala, yandyagadde okudda ku ssomero kuba Lusimbo bwe yali amukozesa yamugamba nti  amuyingizzaamu ddagala.

Jajja w’omuyizi, Hadijah Nakaggwa yagambye nti muzzukulu we yamugambako ku by'okumukozesa era okutegeera nti  omuzzukulu ali lubuto, abasomesa be baamuyise ne babimugamba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kwa Lusimbo era n’agamba nti bali mu kunoonyerezza ku nsonga zino

 

Tags:
Amawulire