Kyaddaaki obuyambi bwa Gavumenti obw'ebijanjaalo, obuwunga n'amatundubaali ng'ebuyisa mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja bumaze ne butuuka eri abatuuze b'e Kamuwunga mu Lwera abaakosebwa amataba agaali gabagobye mu mayumba gaabwe.

Obuwunga n'ebijanjaalo ebyatoneddwa.
Ettu lino libatwaliddwa minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi, Aisha Ssekindi era omubaka omukyala owa Kalungu mu Palamenti.
Abadde ne RDC, Dr. Paddy Kayondo, ssentebe wa LCV Ahmed Nyombi Mukiibi, mmeeya wa Lukaya Town Council Charles Tamale n'abalala.

Minisita Ssekindi ng'agabira abatuuze obuyambi.
Babutuusirizza ku ssomero lya Gavumenti erya Kamuwunga Parents nalyo erizze litaataaganyizibwa amazzi agalyanjaaliramu ne galemesa abayizi okusoma.
Ssentebe wa LCI ey'omwalo guno Ronald Ssemanda n'owa NRM Joseph Mukasa bategeezezza nti abatuuze baabwe e 200 be baakosebwa amataba gano ng'abamu amayumba gaabwe gagwira ddala ku ttaka n'abandi emisiri gy'emmere okuli lumonde, muwogo ne kasooli byasaanirawo ddala.
Mukasa agattako nti ekitundu kino kikoseddwa nnyo n'obulwadde bwa Siriimu ng'abangi bayimiriddewo ku ddagala eriweweezaako ku kawuka kyokka nga kizibu okulimira ng'olubuto temuli kantu.
Beebazizza minisita Ssekindi n'abakulembeze abalala bwe baggusa eddoboozi lyabwe ewa Katikkiro wa Uganda n’abadduukirira.