Aba Gayaza Rotary Club bawabudde: Tweyambise enkuba eno tusimbe emiti

Aba Rotary Club of Gayaza mu Kasangati Town council bawadde Bannayuganda amagezi okweyambisa enkuba eno etandise okutonnya okugyeyambisa  basimbe emiti egyenjawulo okusingira ddala egy'ebibala wamu n'egy'eddagala

Aba Gayaza Rotary Club nga balaga emiti gye baasimbye
By Samuel Tebuseeke
Journalists @New Vision

Aba Rotary Club of Gayaza mu Kasangati Town council bawadde Bannayuganda amagezi okweyambisa enkuba eno etandise okutonnya okugyeyambisa  basimbe emiti egyenjawulo okusingira ddala egy'ebibala wamu n'egy'eddagala nti kino kijja kuyambako okukendeeza ku ssente ze bamalira mu malwaliro kuba basobola okwejjanjaba endwadde ezimu nga bakozesa emiti n'ebikoola.

Bino bannalotale y'e Gayaza abaabadde bakulembeddwamu Pamela Pali, pulezidenti waabwe baabyogeredde ku kyalo Makukuba mu Kalagi gye baweeredde amasomero wamu n'abatuuze emiti egy'ebika ebyenjawulo, nga awamu baawaddeyo emiti 200 era nga egimu baagisimbye Makukuba ku ssomero lya Shared Love.

Pamela yategeezezza nti bali mu kampeyini gye batuumye 'Mission Green' era nga bagenda kusimba emiti egisoba mu 1000 wamu n'okugenda nga basomesa abaana mu masomero mwamu n'abatuuze emigaso gy'okusimba emiti gattako okubalaga akabi akali mu kugitema.

Pamela asabye abantu abatema emiti okufuba okulaba basimbayo emirala so ssi kutema butemi oli n'agenda n'agamba nti abaana baabwe n'abazzukulu egyo emiti gye bazzizzaawo nabo gye balitema nga gikuze.