OMWAKA oguwedde, Uganda yafuna abalambuzi 814,508, omuwendo ogwakkira ddala bw'ogeraageranya kw’abo akakadde akamu mu emitwalo 60 abajja okulambula mu 2019 nga COVID-19 tannaba kujja.
Mu ngeri y'emu, Uganda yafunye obukadde bwa Doola 736 mu 2022 bw'ogeraageranya ku kawumbi ka Doola akamu mu obukadde 60 bwe yafuna mu 2019.
Ebyobulambuzi byakosebwa nnyo ekirwadde kya COVID-19. Kyokka Uganda tetudde kuzinga mikono, tuzze n'omwoleso gwa Pearl of Africa Tourism Expo (POATE) ogw'omwaka guno ogugendereddwaamu okutumbula ebyobulambuzi bya Uganda okubimanyisa mu nsi yonna n'okutegeeza abantu nti, Uganda ky'ekifo ekituufu ky’otosaanye kusubwa kutuukamu.
Daudi Migereko, Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ebyobulambuzi mu Uganda, agamba nti, bakoze bingi okufuula Uganda ekifo ekituufu eky'okulambulwa buli omu nga mu January w'omwaka oguwedde, Uganda yatongoza enkola ya Explore Uganda destination brand, omwalagibwa ebintu bingi ebisangibwa mu Uganda era yawangula n’engule eziwerako okuva mu nsi nga South Africa, France, ne Spain.
Agamba nti, Uganda ezze eragibwa ku mikutu gy'amawulire egy'amaanyi mu nsi yonna nga CNN egizze gitegeeza ensi yonna nti, Uganda y'emu ku bifo ebisinga okuba ebirungi omuntu yenna bye yandikyaliddeko mu 2023.
Enteekateeka ey'omwaka guno, ya kukyaza kkampuni 100 ezisinga okutumbula ebyobulambuzi mu Afrika, bannamawulire abawandiika ku byobulambuzi, kw'ossa abakungu okuva mu Bulaaya ne Amerika baakwetaba mu mwoleso guno ogutegekeddwa Olukiiko olukulira ebyobulambuzi, Minisitule y'ebyobulambuzi.
Migereko agamba nti, omwoleso guno gwa kutunda Uganda n'okutumbula ebyobulambuzi mu mawanga ga East Africa gonna.
“Amawanga ga East Africa gonna meeteefuteefu okwetaba n'okwolesa mu mwoleso guno era tusuubira nti, we gunaggweera nga gutumbudde ebyobulambuzi mu East Africa ng'ekifo eky'awamu,” Migereko bwe yannyonnyodde.
Ng'oggyeko kkampuni 100, aboolesa aba wano n'ebweru abasukka mu 300 n'abalambuzi abali eyo mu bikumi n'ebikumi baakakasizza dda nga bwe bagenda okugwetabamu nga gulitandika nga April 26 okutuuka nga 29, 2023, mu Kampala mu kifo kya Commonwealth Resort e Munyonyo.
Yagambye nti, ennaku essatu ezisooka zijja kussa essira ku kutumbula ebyobulambuzi, ate olusembayo lujja kuba lwa balambuzi n'abaagala okugula ku bintu eby'ebyobulambuzi.
Absuubirwa okuwoma omutwe mu mwoleso guno beebo abawaniridde ebyobulambuzi mu Uganda, n'abalala okuva e South Africa, Kenya, Tanzania, Rwanda, Nigeria, Ethiopia, Egypt, Germany, Austria, Switzerland, Bungereza, Amerika ne Spain