LOODIMEEYA Erias Lukwago asabye Munnamateeka Samuel Muyizzi obutava ku mulamwa gw’okulwanirira ekyukakyuka mu by’obufuzi bya Uganda wadde afuuse omusika wa kitaawe wabula n’amusaba okugenda mu maaso okulwanirira abanyigirizibwa ng’era bwabadde akola.
Yasinzidde ku mukolo gw’okwabya olumbe lw’omugenzi Edward Fredrick Walukejje Mulindwa ng’ono ye kitaawe wa Muyizzi era eyaliko Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu ku kyalo Nabyewanga-Nkoni mu disitulikiti y’e Lwengo mu ssaza ly’e Buddu ku Lwomukaaga May 20,2023.
Okusaba ku mukolo guno kwakulembeddwamu Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula George Ssinabulya nga yakuutidde omusika Muyizzi okubeera omukozi okusobola okuyimirizaawo famire gyasikidde ate n’okwagala ennyo Obwakabaka bwe nga kitaawe bweyalinga.
Muyizzi mulamuzi wa kkooti ya KCCA nga mu kwogera kwe yasabye abantu be bamuwagire,bamuwabule wakati mu kumwesiga asobole okutambulira mu buufu bwa kitaawe gwaddidde mu bigere eyali munnamateeka omukukuutivu,ow’amazima n’obwenkanya bwaatyo n’asuubiza okukuuma ekitiibwa kye.
Sam Kayizi
Omukolo gw’okusumika Muyizzi gwakoleddwa Emmanuel Lubega Mulyanga n’owessiga Mulindwa mu kika ky’engabi nga ye John Chryzestom Matovu nga Stella Nakanwagi yasumikiddwa nga Lubuga we.
Omukolo guno gwetabiddwako Pokino Jude Muleke, Omumyuka w’akulira emirimu mu kibuga Kampala Ying. David Luyimbaazi Ssali Bannabyabufuzi bangi e Masaka n’e Kampala okwabadde Brenda Nabukenya, Abed Bwanika,Meeya we Nakawa Paul Mugambe, Meeya we Makindye Ali Nganda Mulyanyama n’abalala bangi