Ttiimu ya Galaxy FC eye Namuwongo yeetisse empaka z'okulwanyisa okusosolwa mu nsonga z'ekikyala ezaategekeddwa abekitongole ekikola ku kulwanyisa okusasaana kwa mukenenya ekya Uganda Cares.
Uganda Cares
Galaxy FC ekubye kanyogoga FC ku kasaawe e Namuwongo ku ggoolo 3-0 ku luzannya olw'akamalirizo.

Uganda Cares
Waabaddewo n’empaka z’okubaka era nga abawala ba kanyogoga beebaaziwangudde.

Uganda Cares
Empaka zino zaategekeddwa ne kigendererwa eky’okumalawo okusosolwa mu baana ab'obuwala n'abakyala olw'embeera zaabwe ez'ekikyala ez'okugenda mu nsonga.
Abakyala akawumbi kamu mu obukadde 800 bebagenda mu nsonga z'ekikyala buli mwaka wabula nga basanga okusomoozebwa okw'amaanyi olw'okusosolwa.

Uganda Cares
Martha atai ow'ekitongole kya Uganda cares bwabadde abakwasa ebikopo asabye abaami okuyambako bakyala baabwe nga batuuse mu mbeera eyo okusinga okubasongamu ennwe.

Uganda Cares
Mu birala ebyakoleddwa nga bajaguza olunaku luno baagabye condoms n'okuwa abakyala pads ezibayambako nga bali munsonga zekikyala ssaako n'okukebera abantu obulwadde bwa sitiimu ku bwerere.