EBYENTAMBULA ku luguudo lwa Kampala - Masaka bitandise okulongooka oluvannyuma lw’ekitongole kya UNRA okulangirira mu butongole nga bwe kikkirizza abeebidduka ebitonotono okukozesa olutindo olw’ekiseera oluteereddwa ku Katonga.
Ebidduka by’abasaabaze okuli; ttakisi, bodaboda n’emmotoka za buyonjo bizzeemu okusala olutindo luno oluvannyuma lw’ebbanga ng’olutindo luguddemu, ekibadde kisannyalazza ebyentambula ku luguudo lwa Kampala - Masaka ssaako ne bizinensi z’abantu abakolera ku luguudo.

Bodaboda Nga zisala Omugga Katonga
Abakulembeze b’ekitundu kino okuli; Mmeeya wa Kayabwe Town Council, Zed Kasule ne Francis Bbuye ow’eggombolola y’e Nkozi ne Isaya Kimbugwe owa LCI e Kayabwe, baagambye nti olutindo luno okuddamu okukozesebwa kiwadde essuubi ddene nnyo eri ebyenfuna by’ekitundu kino kubanga abatuuze baabwe abasinga beesigamye ku luguudo luno nga kwe bayisa ebyamaguzi n’okubiguza abasaabaze.

Abeebyokwerinda Nga Basala Olutindo Lwa Katonga
Baasiimye minisita w’ebyentambula n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala okusitukiramu n’abakungu ba Gavumenti abalala abafubye okuzzaawo olutindo luno mu budde.
Wabula entambula ekyali ya kasoobo kubanga oludda lw’oluguudo lumu lwokka lwe lwazziddwaawo, ng’abagoba b’ebidduka balina okulinda bannaabwe ne bayitawo, olwo nabo ne balyoka beeyongerayo.

Ebidduka Nga Bisala Olutindo Lwa Katonga
Bbo abasuubuzi b’ebyennyanja, lumonde, omuceere n’abalala abakolera ku luguudo luno naddala mu Lwera, Nabyewanga, Buganga n’e Lukaya aatandise okukomawo wadde ng’abaguzi bakyali batono.
Emmanuel Kansime, akulira bakontulakita abali ku mulimu gw’okuzzaawo olutindo lwa Katonga, yategeezezza nti okusooka okukkirizaako ebidduka ebiwewuka, abakugu baabwe okuli n’aba UNRA bakyetegereza obugumu bw’olutindo oluteereddwaawo balyoke bakkirize emmotoka enzito okuli ne bbaasi okulukozesa.

Ebidduka Nga Bisala Omugga Katonga
Emmotoka enzito ziragiddwa okusigala nga zikozesa oluguudo lwa Ssembabule - Mpigi.
Yagambye nti pulaani y’olutindo lwennyini olw’obuwangaazi esuubirwa okufulumizibwa UNRA mu wiiki bbiri okuva kati nga lugenda kuba n’obuwanvu bwa mmita bbiri okwambuka waggulu.