Amawulire

‘Okwewonya ebizibu balina okuzina ennyimba z'abalongo nga baziika Kato Lubwama, babikire ne bajjajja mu ssabo lye'

AB’EBYOBUWANGWA balungamizza engeri Kato Lubwama gy'alina okuziikibwamu nga bagoberera obuwangwa bw'Ekiganda mw'abadde akkiririza.

Dr. Kimala ng'atangaaza
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Ponsiano Nsimbi

AB’EBYOBUWANGWA balungamizza engeri Kato Lubwama gy'alina okuziikibwamu nga bagoberera obuwangwa bw'Ekiganda mw'abadde akkiririza.

Dr.Adam Kimala  eyali akulira ekibiina ky’Olulimu Oluganda mu ggwanga era eyaliko Katikkiro w’Ekika ky'Emmamba ya Gabunga, agambye nti omulongo tabeera muntu waabulijjo era bw'abwa aziikibwa waliwo emikolo egirina okumukolebwako.

Obulombolombo buno obukolebwa buyamba omulongo okutebenkera obulungi gy'aba alaze ate n'abasigadde ku nsi ne batafuna buzibu.

Yategeezezza nti walina okubeerawo ebbombo,olweza n’Engoma ezitujja wakati mu kuyimba ennyimba z’Abalongo ng’aziikibwa.

Kato Lubwama

Kato Lubwama

Omulongo bwe bamala okumuteeka mu ntaana, jjajja we (ku ludda lwa kitaawe) akomawo ku kiggya n'akola omukolo ogw’okukubikka ekiggya ng’akozesa olulagala lw'embidde.

Kino kikolebwa okulaba ng’omugenzi awummula mirembe gy'aba alaze era singa tekikolebwa asobola okutuusa obuzibu ku basigadde.

Olwokuba nga jajja wa Kato asangiddwa yafa, omulala yenna eyamusikira y’alina okukola obuvunaanyizibwa buno.

Okuziika bwe kuggwa ab’ekika n'abooluganda balina okudda awaka ne bakuma olumbe.

Yalabudde abaffamire obuteetantala kwabizaawo lumbe, kuba tebamanya wayinza okuvaayo abaana oba n’abakyala oluvannyuma ababadde tebamanyiddwa.

Bw'amala era alina okugenda  mu ssabo lya Kato Lubwama n’abikira bajjajja nti omuzzukulu yabuuse (yafudde).

Emikolo gino gyonna gye gisuubirwa okugobererwa  enkya nga baziika Kato Lubwama e Nkozi.

Olw’okuba ng’abadde akkiririza mu buwangwa era nga ne bannaddiini baagaanyi okumusabira, abamu tebalabawo nnyo buzibu bugaana mugenzi kukolebwako mikolo gino mu bujjuvu.

Ye Hajji Ashiraf Ssemwogerere abadde mukwano gw’omugenzi yagambye nti bwe baali baziika Wasswa yamutegeeza nti naye bw'abanga abuuse (ng’afudde) bamuziika nga kumpi ne Wasswa.

Wabula waliwo mikwano gye emirala egyategeezezza nti  yabalamira okumuzimbira akayumba enkuba ereme okumukuba n’omusaana okumwokya.

 

 

 

Tags:
Okuziika
Kato Lubwama
Balongo