Ennyongeza...Ekirungo mu kaboozi ekyongera omukwano mu baagalana

Jun 20, 2023

NewVision Reporter
@NewVision

NE bw’eba mmere ng’ogabula, bwe wabaawo asaba ennyongeza, ofuna essanyu nti by’ofumbye, biwoomye. Ate teeberezaamu bw’oyinza okuwulira nga muli n’omwagalwa wo munyumya akaboozi, ne mumalamu akagoba munno n’asaba ‘anko’!

Omumbejja ssenga Nattu Kagere, abuulirira abaagalana e Katwe agamba nti ekimu ku bintu ebikuumira abaagalana mu mukwano, y’ennyongeza y’akaboozi nga bwe mumalamu akagoba, bwe wabaawo atakkuse n’asaba okumwongera.

Asaba ennyongeza ne gwe bagisaba, kibawa okumatira mu mutima nti emmere gye mwegabudde mpoomu era munno alya n’akkuta n’atawankawanka. Ayongerako nti
okusaba ennyongeza, kikulu mu basajja kuba;

1. Omusajja eyakuzibwa, alina okusaba ennyongeza n’alya n’akkuta n’abeerera ddala ssemaka.
2. Omusajja bw’asaba ennyongeza, omukazi yandimatira nti by’agabudde biwoomu.

Ennyongeza emalawo ekyoyooyo ekyandikuleetedde n’okuwankawanka ebbali.

Wabula Omumbejja Kagere agamba nti oluusi, abafumbo b’ennaku zino, tebagenderera nnyo birungi bibuwangaaza buli omu n’abeera ku lulwe.

Ayongerako nti ate kisuka ku bakazi, abalowooza nti abasajja bokka, be balina okusaba ennyongeza kyokka nga n’abasajja oluusi balinda bakyala baabwe, okugisaba bakibalage nti ddala bawoomeddwa.

EBIREMESA ABAAGALANA OKUSABA OKUBONGEZA AKABOOZI

Omumbejja Kagere agamba nti kirungi okumanya omuziziko ogukulemesa okubaako ekirungi ky’otuukako, n’ogwewala oba n’ogusalira amagezi.

Awabudde abafumbo nti ennyongeza nnungi mu baagalana era bandibadde bagyettanira naye oluusi, wabaawo ensonga ezigiremesa.

 

Akoonye ku zimu ku zo omuli;

l Abamu ku baagalana baba n’ensonyi, ng’okusaba munne amweyongeze lw’aba tamatidde, akitwala ng’eky’ekivve.
l Abakazi abamu balowooza nti abasajja be balina okusaba ennyongeza buli kadde kyokka nga nabo, bwe bagisaba ebawoomera.
l Oluusi abaagalana bafuna gye baliira ebbali, ayinza okutuuka awaka ng’atuusa mukolo nga n’ennyongeza temukolera.
l Situleesi z’emirimu zandireetera omuntu obutasaba nnyongeza ng’amaze okulya emmere esookerwako.
l Kyokka n’abalina apetayiti entono, ennyongeza tebakolera.

Ssenga Nakitto Mpoza

Bakkirizabulungi, jjajja w’abaana e Nabbingo agamba nti ennyongeza, buli omu asobola okugisaba munne bw’aba agyetaaze.

Agamba nti ekikolwa kyandibadde mu baagalana bonna kuba kiraga nti munno akulinamu amaddu nti era talidde kutuusa mukolo.

Ennyongeza eno ekyayinza okuyambako munno akomye mu kkubo okutuuka gy’alaga.

Jjajja Nakitto ayongerako nti olumu, abasajja balina okwetumiikiriza ne bawa bakyala baabwe ennyongeza kuba ebiseera ebisinga, abaami batuuka mangu ku ntikko kyokka ng’abakyala tebannatandika na ku lugendo.

Omusajja alina okuba omukalabakalaba, n’ayongera mukyala we, oboolyawo n’asobola n’okumutuusa mu bwengula. Jjajja Nakitto agamba nti waliwo enkola z’osobola okuyitamu okusaba ennyongeza omuli;

1. Okukyatula n’ebigambo, bw’oba nga munno omweyabiza bulungi.
2. Okukozesa ebikolwa nga mwakamala luutu, munno n’akitegeera nti weetaaga akazannyo akalala.
3. Okuteesa ku luutu ze mugenda okusamba n’ennyongereza ne mugibalira omwo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});