Bya Ponsiano Nsimbi ne Ali Wasswa
WABALUSEEWO okusika omuguwa mu famire y’Omugagga Apollo Nyegamehe ‘Aponye’ oluvannyuma lw'agambibwa okubeera mutabani we omukulu okwesowolayo n'akukkulumira famire ya Aponye okumwegaana nga bwe batamumanyi.
Bruce Kayumbu 45, okuvaayo kyaddiridde Harold Byamugisha mutabani wa Aponye era akulira kkampuni ya Aponye Uganda Ltd, okuvaayo mu lujjudde ku Ssande e Lubowa mu maka g’omugenzi n’ategeeza, abakungubazi nga bwe batasuubira muntu yenna ku beerimbikamu nti, mwana wa kitaabwe.
Wakati mu kwogerako eri abakungubazi abaakuhhaanidde mu maka g’omugenzi e Lubowa Byamugisha eyalondeddwa okwogera ku lwa bamulekwa yasoose kulagira baganda be okwepanga okusinziira ku buzaale bwabwe era olwakimaze n’awa buli omu omuzindalo okweyanjula olwaweddeyo n’abalagira okuddayo n’atandika okwogera kwe.
Ono eyabadde omumalirivu ennyo yakikkaatirizza nti abaana ba kitaawe ab’omu ntumbwe bali 12, bokka olwo abakungubazi ne bawuniikirira nga balinda ekiddako.
Abamu Ku Baana Ba Aponye Mu Kumusabira Mu Klezia E Muhanga
"Ka ntwale omukisa guno okutangaaza ku nsonga eno, yadde muzeeyi akuzizza abaana bangi mu makaage naye abaana be ab'omu ntubwe tuli 12, era tetusuubirayo mulala yenna kutwerimbikamu.”
Embeera yaleetedde abakungubazi okulowooza nti ono alabika yabadde alina ky’agezaako okuzibikira kyokka mikwano gya Aponye egy’oku lusegera gyategeezezza ng’ono bwe yabadde ayogera ku baganda be nnyina be yajja nabo mu bufumbo. Era nnyina yalabise nga tekimuyisizza bulungi.
NNAMWANDU AVUDDEYO
Ebigambo bya Byamugisha mu maka e Lubowa tebyasanyusizza nnyina Vangilsta Nyegamehe era ono ne bwe yabadde mu Lutikko e Lubaga yatutte omukisa okukikkaatiiriza nti omugenzi abadde tasosola mu baana be era n’abasaba okutambulira awamu n’asuubiza n’okutambula nabo mu mbeera zonna.
Mu ngeri y’emu ku Lwokubiri, Nnamwandu Vanglista Nyegamehe yasinzidde mu Klezia e Muhanga bba gye yazimba era awali n’amaka g’omu kyalo, n’ategeeza abakungubazi ng’omwana ayogerwako bw’atamumanyi kubanga bba tamumugambangako. Ono yatuuse n’okuyimiriza abaana bonna b’azaala n’abaakulira mu maka gaabwe n’abalaga abakungubazi.
Omugenzi Aponye
Omulambo gw’omugagga Aponye, e Rukiga gwatwaliddwa butereevu mu Klezia y’e Muhanga eya St. Luke gye yazimba, era Mmisa yakulembeddwa Fr. Prosper Rugambwa ng’ayambibwako Fr. John Byamuka, ng’ono yayogedde ku Aponye ng’abadde Omukristu ow’amazima akoleredde Klezia ne ggwanga lye.
Aponye yafiira mu kabenje ku Lwokuna bwe yali agenda e Kabale okuziika mmotoka mwe yali atambulira ne banne bwe yatomera loole eyali efiiridde ku kkubo ku kyalo Itojo e Ntungamo, nga aziikibwa leero mu makaage e Muhanga.