BUKEDDE W’OLWOKUBIRI ALIMU EBIKULU BINO BY’OTOSAANA KUSUBWA
Mulimu Kabaka by’alagidde Obuganda okukola ne bw’alumbye abatayagala Bwakabaka. Bino byonna tubikuleetedde kigambo ku kigambo.
Ssente za Parish Development Model zituuse mu Kampala, abazivunaanyizibwako ne balaga ebirina okukolebwa okuzifuna.
Ukraine eyongedde okufunga ekyonga bw’ekubye mu kibuga ekikulu ekya Russia ebizimbe ne bituntumuka omuliro.
Omuyizi wa Top Class bamuggye ku ssomero ne bamutta mu bukambwe.
Mu Ssenga. Abasawo balabudde ku mpeke za ‘Man Power’ abasajja ze bettanidde okumira ensangi zino okubongera embavu nga beesanyusa ne baganzi baabwe. Tosubwa n’omuko mulamba ku banoonya ababeezi.
Mu Byemizannyo: Aba ManU banyiivu, bayombesa omutendesi Ten Hag olw’abazannyi be yeesibyeko. Tukugattiddeko n’ebiri mu katale k’abazannyi nga ttimu mu Bulaaya zongera okwenyweza olwa sizoni ekubye koodi.
Bino n’ebirala mu Bukedde w’Olwokubiri atereeza ensonga z’amaka.