Abantu 6 abagambibwa okuwamba ettaka okuli ebikajjo e Lugazi bakwatiddwa
Aug 03, 2023
Abantu mukaaga abagambibwa okugezaako okuwamba ettaka okuli ebikajjo e Lugazi, bakwatiddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
Abantu mukaaga abagambibwa okugezaako okuwamba ettaka okuli ebikajjo e Lugazi, bakwatiddwa.
Abakwatiddwa kuliko: abazirwanako n'omuvuzi wa bodaboda era nga ye agambibwa okubatwalayo, Sunday Ggiga , adduse naye bamunoonya.
Enkaayana zino, ziri ku ttaka okuli e Bikajjo bya SCOUL ku kyalo Kataka Stage mu Cable village e Lugazi mu Buikwe.
Abakwatiddwa ye Wasswa Segawa, Amos Khalifa, Yusufu Mutabaazi, James Hakim Gannyana, Benya Mugaba n'omuvuzi wa bodaboda Tadeo Yudah.
Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa, Hellen Butoto, agambye nti ye abadde n'emmundu adduse era nga bamunoonya.
Ayongeddeko nti babaguddeko emisango gy'okusaalimbira mu kifo mu bukyamu , okwonoona ebirime n'ebirala, okubuuliriza kugenda mu maaso.
No Comment