NUP ewakanyizza ekya basipiika baayo okusisinkana Museveni

Aug 11, 2023

“Saagala aba NUP baleme kweyisaako nti tebaagala ssente",

NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kigudde mu lukwe lwa basipiika ba disitulikiti, City ne munisipaali lwe baluse okusisinkana Pulezidenti Museveni asobole okubakolera ku bizibu byabwe ebibasoomooza. 

Akulira ofiisi etwala Gavumenti z’ebitundu mu NUP, Alex Rovans Lwanyaga yagambye nti tebasuubira sipiika yenna ow’ekibiina kyabwe okugendayo n’alabula nti aneetantala n’alinnyayo yeenenyanga yekka ku binaddirira.

Najja Ow’e Wakiso.

Najja Ow’e Wakiso.

 Yagambye nti waliwo basipiika baabwe abamu abaabab-biddemu ku nteekateeka eno gye baategedde nti ekulembeddwa aba NRM okuli sipiika we City y’e Mbarara, Bonny Tashobya Karutsya ne sipiika we Lubaga Musa Mbaziira. 

Ekibiina kyafulumizza ekiwandiiko ekirabula basipiika baabwe obutagenda mu nsisinkano yonna kuba kyabu-labe gye bali ng’abantu n’enkola y’ekibiina mwe bakkiririza. Lwanyaga agamba nti wazze wabaawo en-teekateeka ezikolebwa okutwala bammemba baabwe e Kyankwanzi, kyokka nga bazirinnyamu eggere. 

Olusembyeyo baali baagala kutwala bassentebe ba disitulikiti ne bammeeya b’ebibuga ne babagaana okugenda. Baalabye tekibamalidde kati bazze ku basipiika.

Bobi Wine ng'ali mu Palamenti.

Bobi Wine ng'ali mu Palamenti.

Ssaabawandiisi w’akabondo aka-gatta abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu aba NUP era sipiika we Wakiso, Nasiif Najja ya-gambye nti baategeddeko ku nteekateeka eyogerwako. 

Kyokka bakubiriza buli mmemba waabwe obuteetantala kugendayo. Ekirala kye baategeddeko kwe kuba nga wali-wo bannaabwe abeeku-lubeeseza ku pulojeti ya MK Movement ne ‘Jjajja Tova ku Main’. Kyokka bino byonna bikontana n’ebiruubirirwa byabwe.

 Sipiika w’e Makindye, Charles Luba Lwanga yategeezezza nti enteekateeka aziwulira, kyokka nga talabawo bwetaavu bwa nsisinkano eno.

Bukedde bwe yatuukiridde Mbaziira gwe balumiriza okubeera emabega w’ensisinkano eno, yagambye nti kituufu basipiika baasaba Pulezidenti abasisinkane bamunnyonnyole embeera gye bayitamu ng’okubeera nga tebabanguddwa mu by’amateeka ge balina okukwasisa.

Yagambye nti ensisinkano teriimu byabufuzi ng’aba NUP ne bwe baba tebagenze tekiremesa lukiiko kubaayo.

Yagambye nti balina basipiika 4,500 mu kibiina kya Uganda Urban Councils Speak-ers Association mwali omuwandiisi nga NUP balinako 85 bokka. 

“Saagala aba NUP baleme kweyisaako nti tebaagala ssente", n’agamba nti ekibiina kya NUP ne bwe kinaagaana basipiika baabwe ky’amanyi bajja kugenda kuba be basinga okukyagala basobole okuweereza obulungi,” Mbaziira bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});