Omusibe mu gwa Nagirinya abanja bujulizi ku fayiro

Aug 11, 2023

OMUSANGO gw’okuwamba n’okutta Maria Naggirinya guzzeemu okuwulirwa mu kkooti enkulu omusibe Copoliyamu Kaso­lo n’ateeka kkooti ku bunkenke nti obujulizi bwe obukulu bwe yawa nga yeewozaako tebwateekebwa ku fayiro y’omulamuzi.

NewVision Reporter
@NewVision

 Bya Alice Namutebi

OMUSANGO gw’okuwamba n’okutta Maria Naggirinya guzzeemu okuwulirwa mu kkooti enkulu omusibe Copoliyamu Kaso­lo n’ateeka kkooti ku bunkenke nti obujulizi bwe obukulu bwe yawa nga yeewozaako tebwateekebwa ku fayiro y’omulamuzi.

Omusango gwa Naggirinya gumaze omwezi gumu n’omusobyo nga gwawummuzibwamu naye olwazzeemu Kasolo yatandikidde we yakoma n’agamba nti obujulizi bwe nga bwe yabuwa, ku fayiro tebwateekebwako.

Yategeezezza omulamuzi Isaac Muwata nti obujulizi bwe yawa mu kkooti bwe yali yeewozaako nti abapoliisi baamukuba nga bamutulugunya ne bamukaka okussa omukono ku sitetimenti nga yeerumiriza okuwamba n’okutta Naggirinya, byonna ku fayiro ya kkooti tebyateekebwako ng’ate ensonga y’okumutulugunya nkulu nnyo gy’ali.

Kasolo yagambye omulamuzi nti kino yakitegeera jjuuzi bwe yali mu kkomera ne bamuleetera kkoppi y’obujulizi bwe asobole okulam­bululira kkooti ebirumira ebiri mu bujulizi bw’oludda oluwaabi kkooti kw’eba esinziira okumwejjeereza omusango ekiyitibwa “final submis­sions”.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});