Abakungubazi basse omuserikale eyagenze okukuuma abaabadde baziika omusibe
Apr 07, 2025
POLIISI etandise omuyiggo okukwata abantu abakkakkanye ku muserikale waayo eyabadde akuuma abaziisi ne bamukuba nebamutta.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI etandise omuyiggo okukwata abantu abakkakkanye ku muserikale waayo eyabadde akuuma abaziisi ne bamukuba nebamutta.
Bino byabaddewo ku Ssande eggulo, abantu bwe baakubye Suleiman Chemonges 28, omuserikale No 75290 PC abadde akolera ku poliisi y’e Bisheshe mu disituliki y’e Ibanda ekibinja ky’abantu abatannategeerekeka bwe bamuzinzeeko ne bamukuba n’afa.
Chemonges Bw'afaanana.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi, ( Greater Mbarara) SP Samson Kasasira yagambye nti omuserikale Chemonges yasindikiddwa okukuuma awaakumiddwa olumbe n’okuziika omusajja Lazarus Kahangire eyafiridde mu kkomera e Nyabuhike.
Yagambye nti ekibinja ky’abantu kyalumbye Chemonges ne kimukuba ne kimutta wabula ne kirekawo emmundu ye eyabaddemu amasasi 16 eyazuuliddwa
Yategeezezza nti abaserikale baagenze ne batwala omulambo gwa Chemonges baagututte mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Ruhoko ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okusobola okuzuula bonna abeenyigidde mu ttemu.
No Comment