POLIISI etandise omuyiggo gw’omuvubuka agambibwa okukwata akatambi k’abaagalana abaabadde beesanyusiza munda mu kaabuyonjo ku bbaala ya Kenj’s Cocktail, esangibwa e Kamwokya mu Kampala.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti eyakoze kino, yamenye etteeka eritangira obuseegu n’okusaasaanya ekintu kyonna ekibwekuusaako.
Poliisi era yategeezezza nti egenda kuyita omuwala Christine Nampeera, alabikira mu katambi wamu n’omwagalwa we eyategeerekese nga Barasha, bannyonnyole ekyabaleetedde okufuuka ekitagasa mu kifo eky’olukale.
Barasha, amannyiddwa nnyo mu muzannyo gwa Rugby so nga Nampeera abadde yeegulidde erinnya olw’okukozesa emikutu gya yintaneeti, era kigambibwa nti abadde yaakamaliriza emisomo gye mu yunivasite emu mu ggwanga.
Kigambibwa nti Nampeera ebiseera ebimu abadde ayogera ku mikolo era amanyiddwa nga musanyusa.
Okunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti waliwo ekibinja ky’abavubuka abeegumbulidde omuze gw’okukwata obutambi bw’abantu abalina amannya n’ekigendererwa eky’okubaggyamu ssente oba okuboonoonere erinnya, nga kiteeberezebwa nti eyakutte abaagalana bano ali mu kibinja kino, era poliisi etandise okumuyigga.
Abaddukanya ebbaala awaakwattiddwa akatambi baategeezezza Bukedde nti ebyakoleddwa mu kaabuyonjo zaabwe byabakubwe wala era nga nabo baakyekangidde ku mikutu gya yintaneeti nga bisaasaanye.
Bagambye nti ekyewuunyisa, omuwala ye yalumbye omulenzi mu kaabuyonjo, kubanga singa omulenzi ye yalumbye omuwala, awo kyandibadde kyangu okukitegeera engeri gye kiri nti ku kaabuyonjo z’abakazi baateekawo omukozi nga mukyala atavaawo.
Eggulo (Lwakubiri), omu ku baddukanya ekifo kino yategeezezza nti baatuukiridde Nampeera ne Barasha ne bababuuza ekyabadde kibatuuseeko okwenyigira mu kikolwa eby’ensonyi nga bali mu kifo kino kyokka Barasha n’agaana okubaako ky’ayogera.
Ye Nampeera yabategeezezza nti naye tayinza kumanya kye yabaddeko ku lunaku olwo kyokka n’anenya eyabakutte akatambi ate n’akasaasaanya.
Yagasseeko nti bino byaliwo kyenkana omwezi mulamba n’ekitundu emabega naye yeewuunyizza ekigendererwa ky’oyo eyabadde emabega w’okubakwata n’okusaasaanya akatambi kano.
Nampeera ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter, yataddeyo obubaka nga yeetondera mikwano gye, ffamire ye, na buli ssekinnoomu okumusonyiwa olw’ebyo ebyaguddewo. Obutambi buno bwasooka kufulumizibwa ku Ssande nga August 27, era akawunti ye yabooze olw’obubaka obulinga amazzi bwe baabadde bafuna ng’abantu babatendereza so ng’abalala babanenya olw’okufuuka ekitagasa mu kifo eky’olukale.
Eggulo, (Lwokubiri) we bwazibidde abaddukanya Twitter, baabadde baggaddewo akawunti ya Nampeera, era nga kigambibwa nti kyavudde ku bubaka obumu obwabadde bawemula abantu bwe baabadde bamuweereza, wamu n’ebifaananyi ate nga kimenya amateeka.
We bijjidde nga poliisi ekyanoonyereza ku muntu eyasaasaanya akatambi ka Sheila Gashumba ku mikutu kya yintaneeti ng’ali bwereere.