Omugagga Moses Kalungi akoledde mutabani we akabaga k'amazaaliba mu nnyonyi ya Emirates

Sep 19, 2023

OMUGAGGA Moses Kalungi “Billgates” yaayongedde okukakasa Bannakampala nti ssente si kizibu kye bwakoledde mutabani Kalungi Billgates Junior ow’e myaka 5, akabaga k’amazaalibwa ge mu nnyonyi ya Emirates bwe babadde bagenda okuwumulamu mu Amerika.  

NewVision Reporter
@NewVision

OMUGAGGA Moses Kalungi “Billgates” yaayongedde okukakasa Bannakampala nti ssente si kizibu kye bwakoledde mutabani Kalungi Billgates Junior ow’e myaka 5, akabaga k’amazaalibwa ge mu nnyonyi ya Emirates bwe babadde bagenda okuwumulamu mu Amerika.

Bilgates ne Mukyala we nga ali ku nnyonyi

Bilgates ne Mukyala we nga ali ku nnyonyi

Kalungi Junior ono ye mutabani w’omugagga Kalungi gwazaala mu mukyala muto Jenifer Mujungu eyaliko omubaka omukyala owa Palamenti ng’akikkirira disitulikiti y’e Ntoroko

Engeri buli mwana gy’azaalibwa n’omukisa gwe,  ono y’omu ku baana b’omugagga Kalungi beyazaalira mu Amerika.

Karungi Bilgates

Karungi Bilgates

Okumanya Billgates Junior wanjawulo ku banne, kitaawe  azze amukolera ebintu eby’enjawulo omuli n’okumukolera obubaga bw’amazaalibwa obwa maanyi gattako okumugulira ebimotoka ebye bbeeyi nga biva mu Amerika nga kuliiko n’amaanya ge nti “BILLGATES JUNIOR”  nga ne bwe yali aweza omwaka ogusooka  yamukolera akabaga ku woteeri ya Golden TULIP Hotel mu Kampala  abantu abasinga ke balowooza nti yali mbaga.

Moses Bilgates

Moses Bilgates

Kalungi mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenze okuwummulamu ne mukyala we Mujungu n’omwana waabwe ono omwezi mulamga yagambye nti akooye okusula mu woteeri ng’agenzeeyo era ku luno alina okudda ng’amazze okugulayo ennyumba mwe banatuukira nga nga bagenzeeyo kubanga ssente tekikyali kizibu kye

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});