Basabye kkooti esingise Kasolo ne banne ogw’okutta Nagirinya

Sep 20, 2023

OMUVUBUKA Copoliyamu Kasolo ne banne abagambibwa okuwamba n’okutta Maria Naggirinya bannyogogedde mu kkooti abawabuzi ba kkooti bwe bategeezezza omulamuzi nti omusango gw’obutemu gubasinga.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUVUBUKA Copoliyamu Kasolo ne banne abagambibwa okuwamba n’okutta Maria Naggirinya bannyogogedde mu kkooti abawabuzi ba kkooti bwe bategeezezza omulamuzi nti omusango gw’obutemu gubasinga.
Sharp Mutoni ne Simon Okongo baatekebwawo ku lwa Bannayuganda  bonna okugoberera omusango gw’okutta Naggirinya ne ddereeva we Ssalongo Ronald
Kitayimbwa era eggulo baawadde omulamuzi Isaac Muwata ensala yaabwe nga basingisiza abavubuka bonna emisango gy’obutemu.
Abawabuzi ba kkooti ababeera mu misango gyonna egyannagomola nga be basooka okuwa omulamuzi endowooza yaabwe nga bamulung’amya ku ky’okukolera abasibe, okubasingisa omusango oba okubejjeereza.
Abagenzi baawambibwa okuva e Lungujja nga August 28, 2019 ne batwalibwa mu Lusaalu e Nama Mukono gye baabakubira okutuusa okufa nga ekigendererwa kyali kya
kubabbako ssente.
Poliisi yakwata akabondo k’abavubuka okuli Johnson Lubega, Nasif Kalyango, Hassan Kisekka, Sharif Mpanga, Sadat Kateregga,  saac Ssenabulya ne kamanda
waabwe Copoliyamu Kasolo abaali bakolera ku Mabiito e Nateete ne babavunaana okutta abagenzi.
Bavunaanibwa buli omu emisango mukaaga okuli egy’obwakkondo, okuwamba n’obutemu.
Nga basaba omulamuzi naye asingise abavubuka bano emisango baagambye nti obujulizi bwa munnaabwe Ssenabulya eyakkiriza omusango n’asibwa emyaka 40 bubawaayo kubanga bonna yabalumiriza nti baali bonna ku ppikippiki nga bagoberera emmotoka ya Naggirinya okutuuka e Lungujja we baabawambira ne babatwala e Nama
ne babakuba okutuusa lwe baafa. Bwe baavaayo ne bagya ssente ku massimu gaabwe ne baddayo ku Mabiito Kasolo n’abagabanyiza ssente zebabba ku bagenzi. Bombi baasinze kwesiba ku Kasolo nti singa teyali ye abagenzi tebandittiddwa kubanga ye yaleeta
ddiiru n’agitegeeza ku banne ne batandika okulondoola abagenzi era n’akola emmundu enjingirire gye baakozesa mu kuwamba

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});