Amawulire

Ekibalo kya Bobi ku ntalo eziri mu FDC

ABATUNUULIZI b’ebyobufuzi boogedde ku bigenda mu maaso mu kibiina kya FDC ne bategeeza nti Bobi Wine n’ekibiina kye ekya NUP boolekedde okweyuzaayuzanga okuli mu FDC, okusinga ebibiina ebirala byonna omuli ne NRM Mu kiseera kino

Lukwago, Amuriat ne Nandala nga bali ku kitebe gye buvuddeko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUNUULIZI b’ebyobufuzi boogedde ku bigenda mu maaso mu kibiina kya FDC ne bategeeza nti Bobi Wine n’ekibiina kye ekya NUP boolekedde okweyuzaayuzanga okuli mu FDC, okusinga ebibiina ebirala byonna omuli ne NRM Mu kiseera kino ebigenda mu maaso mu FDC, biraga ng’enjuyi zombi ezaafuna obutakkaanya tezisobola kuddamu kukolagana, ekiwadde NUP omukisa gw’okufuna bammemba abapya
wamu n’ebikonge, olwo okulonda kwa 2026 kugende okutuuka nga Bobi Wine ne NUP baamaanyi okusinga bwe baali mu 2021. Bobi n’ekibiina kye ekya NUP, baasooka kuganyulwa mu ntalo ezaali mu DP, bwe baafuna bammemba ba DP abaali tebakyakkaanya ne Pulezidenti Nobert Mao. Mu bano mwalimu Betty Nambooze Bakireke, Mathias Mpuuga Nsamba, Medard Lubega Sseggona, Michael Kakembo, n’abalala.
Obumanyirivu bwe balina mu byobufuzi bwayamba nnyo NUP okuggumira, kubanga yatuula butereevu mu mirandira gya DP naddala mu bitundu ebyalimu DP nga yamaanyi ate nga bammemba baayo tebakkaanya na Mao.
Abatunuulizi b’ebyobufuzi  bagamba nti nga NUP bwe  yakola ku DP, ne kati entalo gye
zeeyongera mu FDC, yo NUPeteeze kuvuba bammemba, eyongere okwenyweza. Kyokka era abakugu balabudde nti ebyali mu DP n’ebigenda mu maaso mu FDC, NUP terina kweyibaala, nayo ebizibu bisobola okugirumba essaawa yonna.
ENGERI NUP GY’ETEEZE OKUFUNA MU NTALO ZA FDC
Eyali omubaka wa Palamenti n’akulira n’ekibiina kya Foundation of African Development ekibadde kiyamba okuluhhamya n’okusomesa ebyobufuzi bya Democracy, Henry Bazira Ssewanyana yagambye nti ebigenda mu maaso mu FDC, NUP egenda kubifunamu ng’ewandiika bammemba abapya ababaddeko mu lutabaalo
lw’ebyobufuzi.
Kino kigenda kugiyamba okugaziwa n’okufuna amaanyi, olwa bammemba ba FDC abatakyasobola kubeera Najjanankumbi okuyaayaana okukiyingira. Wabula Ssewanyana yalabudde nti ne NUP nayo mu kaseera katono esobola okufuna ebizibu bye bimu FDC by’efunye, kubanga ekizze kitabula ebibiina ebirala kikyaliwo.
Yajjukizza NUP nti eggwanga libaddemu ebibiina eby’amaanyi nga DP, naye bwe kyayingirirwa ssente, kyatabuka era kati kyanafuwa. Ne FDC ng’etandika, bammemba baayo abamu yabavuba mu DP era ne bayaayaana okugiyingira, naye kati nabo ssente zaabayingiddemu ne basasika, nga NUP nayo esobola okutuuka mu buzibu bwe bumu.
Yawabudde nti nga demokulasiya waakutojjera mu ggwanga, buli kibiina kiteekwa okuba n’amaanyi, era abakulembeze abaamaanyi bateekwa kusinziira mu bibiina byabwe ebizimbiddwa obulungi okusobola okuleetawo enfuga ennungi.
NUP, agamba nti tebasanyukira kya FDC kutabuka kubanga baagala ebibiina byonna bibeere n’amaanyi okusobola okutaayiza obulungi aba NRM.
Kyokka bwe watabaawo mukisa gwa FDC kutereera, yo NUP ebaaniriza basobole okukolera awamu kubanga bwe guba mupiira, FDC erina bannabyabufuzi abalungi era abalina obumanyirivu ate be baludde nga balaba nga tebakyukakyuka.
Yayongeddeko nti abalya ssente ‘z’ekibi’ be basinze okutabula enkola y’ebibiina ne babireetera okulemererwa okuwangula obukulembeze era bo mu NUP baatandika dda okwekengera n’okuzibikira emiwaatwa egiyinza okuviirako ssente nga zino okuyingira.
Polofeesa Mwambutsya Ndebesa, omusomesa w’ebyafaayo n’ebyobufuzi e Makerere,
yagambye nti entalo mu FDC si mbi nnyo ng’abamu bwe bagamba. Agamba nti kino si kye kibiina ekisoose okusattulukuka kubanga ne UPC okufuuka ey’amaanyi yava mu kusattulukuka.
Okusattulukuka kuyamba abalina endowooza ez’enjawulo okufuna  omwagaanya okuzimba n’okukulaakulanya endowooza yaabwe nga tewali kulemesebwa
batagikkiririzaamu.
Abaavudde mu FDC, nga balinamu endowooza efaanana eya NUP, agamba nti kati bafunye omukisa okugenda mu kifo gye bagenda okukulaakulanyiza endowooza zaabwe, era NUP kati erina kuggulawo nzigi.
ENTALO ZIREKA WA BANNABYABUFUZI
Loodi Meeya Erias Lukwago yalondeddwa nga Pulezidenti wa FDC, mu kiwayi ky’e
Katonga, kyokka Amuriat n’amusekerera ng’agamba nti ekifo baamuwadde byoya bya nswa kubanga ttabamiruka mwe baamulondedde teyabadde mu mateeka.
Kyokka Lukwago ye agamba nti yeeyongedde maanyi kubanga ebyobufuzi bye azze
abitambuliza ku mpagi ssatu ng’atuuka ku buwanguzi nga n’olutalo lwa FDC agenda
kuluwangula.
Yagambye nti empagi essatu kw’ayimiridde yazeesigamya ku bantu abalina ensa era abazze bakola ebintu mu bwesimbu ate ne bawangula. Yamenye nti empagi esooka yali omugenzi Dr. Sulaiman Kiggundu eyatandikawo bbanka ya Greenland n’ekulaakulanaera yamwagala nnyo nga buli kimu ky’akola gw’akoppa.
Yayogedde ku mulala ye mugenzi Dr. Kawanga Ssemogerere eyali ssenkaggale wa DP nti byonna bye yakola yali asooka kubyekenneenya nnyo era yamuyamba nnyo
okumuluhhamya nga buli kiseera amutwala nga mutabani we.
Owookusatu ye Dr. Kizza Besigye gw’ali naye ekiseera kino. Yagambye nti ono atambudde bulungi mu lugendo lwe olw’ebyobufuzi era oludda lw’ayimirirako naye kw’abeera.
Bammemba ba FDC baayimiridde nabo nga Ibrahim Ssemujju Nganda n’abalala nabo agamba bamuwa amaanyi era agenda
kuwangula.
NSIBAMBI NAYE AGAMBA TATIDDE
Yusuf Nsibambi omubaka wa Mawokota South, abatunuulizi b’ebyobufuzi abamu gwe balowooza nti yabaze bubi empiki ze okusigala e Najjanankumbi, gamba nti ye ebyobufuzi tabiriimu kufuna ssente ng’abalala ababitwala ng’omulimu, era okubeera
omubaka wa Palamenti obeera totuuse mu Ggulu ng’abamu bwe balowooza.
Yagambye nti ye agenda kusigala ku mazima, kubanga ebyobufuzi eby’okulimba abantu
n’okubacamuukiriza ng’abali e Katonga bwe bakola ye tabikkiririzaamu. Yalabudde abali e Katonganti ensi egenda ebategeera era tebagenda kuwangaalira mu bulimba ekiseera kyonna.