Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu asoomoozezza Bank ku kuwola ssente
Oct 01, 2023
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu asabye bbanka okukomya okutema nga ku ssente z'ábantu mu ngeri etali nambulukufu ssaako nókubabinika nga emisoso emingi nga gyonna girubiridwamu kutema ku ssente zaabwe

NewVision Reporter
@NewVision
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu asabye bbanka okukomya okutema nga ku ssente z'ábantu mu ngeri etali nambulukufu ssaako nókubabinika nga emisoso emingi nga gyonna girubiridwamu kutema ku ssente zaabwe
Abakulu mu mabanka mbasaba musomese abakozi bammwe bewalire ddala omuze ogwókukozesa nga olukujju kujju okubba ssente zábantu kubanga abamu guno bagufude muze era banyumirwa ‘’ Kazimba bweyasabye
Okwogera bino ssabalabirizi asinzide mu kusaba okubadde okwenjawulo ku kkanisa ya All saints cathedral e Nakasero olunaku olwa leero okubadde okwókusabira bana bizinesi okusingira ddala abo abali mu mulimu gwa bbanka ogwókutereka nókuwola abantu ssente era nga okusaba kuno kwetabidwamu abali mu mulimu guno abasobye mu 100 .
Okumalawo omuze gwóbufere mu mabanka akuutide abagakulira okwongera amaanyi mu tekinologiya ne ‘data’ kiyambeko okuziba emiwatwa gyonna egibadde giyitwamu okubba ssente zábantu ku akawunti .
Mungeri yeemu alaze obwetaavu bwa zi bbanka okwongera okusomesa abantu nókubagazisa okutereka ssente zaabwe mu bbanka naddala abo abali mubyalo nga bayita mukubayigiriza enkoza yébyuma bya tekinologiya nga ATM nebirala .
‘’ Mbakuutira mwongere okukolagana ne bbanka muleme kutereka ssente mu mayumba kyabulabe nnyo ‘’ Kazimba bwasabye .
No Comment