ABANTU abatannategeerekeka bawambye eyavuganyako ku kifo ky’obwakkansala ku tiketi ya NUP mu muluka gw’e Bukasa, mu munisipaali y’e Makindye ne bamutta mu bukambwe.
Rosemary Ngabirwe, abamu gwe babadde bamanyi nga Mugabirwe 35, abadde omutuuze w’e Namuwongo - Kanyogoga ye yawambiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki
ewedde n’attibwa mu bukambwe oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa ku ffaamu y’omutuuze Chris Nsizimuheire, ku kyalo Wabiyinja B, mu ggombolola y’e Kikandwa mu disitulikiti y’e Mityana.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala, Rachael Kawala, yategeezezza nti omugenzi abadde musuubuzi era ng’alina ne saluuni mu bitundu by’e Kisugu.
Omugenzi era y’abadde dayirekita w’essomero lya Kanyogoga Islamic Junior School, era ng’alina n’amayumba g’abapangisa agawerako.
Eggulo, poliisi yakutte bba w’omugenzi eyategeerekese nga Sheikh Ahmed, ne muggya we, atannategeerekeka mannya nga bateeberezebwa okuba n’omukono
mu ttemu lino.
Kyaddiridde abatuuze okubategeeza nti abafumbo bano babadde n’obutakkaanya era ng’ensonga zaabwe zibadde zimanyiddwa baliraanwa, abakulembeze b’omu kitundu ne poliisi ekola ku nsonga z’amaka n’abaana e Kisugu.
Obutakkaanya bubadde buva ku musajja kugobaganya mukazi mu ssomero lye baatandika bombi kyokka n’aliteekamu muggya we.
Abatuuze bannyonnyodde nti muggya w’omugenzi aludde ng’amwewerera era nga ku
Lwokutaano lwe yabuzibwawo, yamulumba bwe yali alongoosa mu muzikiti n’amuggulako olutalo nga bw’amulaalika nga bw’alina okwesonyiwa ensonga z’essomero kubanga yalema okuzaalira omusajja.

Sheikh Ahmed, bba w’omugenzi
Omu ku batuuze ataayagadde kwatuukirizibwa yategeezezza nti omugenzi abadde
nfanfe we nnyo era ng’abadde amweyabiza mu buli kimu. Yagambye nti azze afuna
embuto kyokka nga zivaamu era ng’ekintu kino kibadde kimubobbya nnyo omutwe.
Yagasseeko nti wadde ye yatandikawo essomero n’aliyingizaamu bba olw’okuba
musomesa, omugenzi w’afiiridde ng’ekifo kye yali akolamu nga bbaasa, bba yakimugobamu n’amusikiza muggya we.
Lwe baasembayo okunenehhana, omugenzi yasalawo okwesonyiwa eby’essomero
n’asigaza emizigo gy’abapangisa kyokka nga nagyo okugifuna, yamala kubiyingizaamu
poliisi.
Bwe yabadde yaakakwatibwa, Ahmed yategeezezza nti yasemba okuwuliziganya ne mukyala we mu kiro ekyakeesa Olwokutaano, kyokka kyamukubye encukwe okufuna
amawulire nga bamugamba nti yabadde attiddwa.
Yagambye nti yalinnya boda n’emutwalo ku ssomero gy’asomesa, ate mukyala we n’agenda ku saluuni e Kisugu.
Wabula abatuuze balumiriza nti baasemba okulaba ku mugenzi ku Lwokutaano ku ssaaw 9:00 ez’olweggulo ng’apapirira ng’alabika nga eyaliko olugendo gye yali alaga olwali lumuguddeko obugwi.
Omu ku mikwano gy’omugenzi yategeezezza nti yasemba okwogera naye mu kiro ky’oku Lwokutaano, ng’amugamba nti yali alina ky’ayagala okumugamba ate omulala
n’amusaba amufunire abantu abaagala enju z’okupangisa, kyokka kyababuuseeko
enkeera ku Lwomukaaga okufuna essimu nga babagamba nti yabadde attiddwa.
MU NGALO Z’OMUGENZI BAGGYEEMU AKAPAPULA OKULI ENNAMBA Y’ESSIMUPoliisi okuva e Busunju yayitiddwa awaabadde omulambo ne basanga nga mu ngalo ze baabadde bataddemu akapapula okwabadde ennamba y’essimu ya muganda we, Grace Kyosiimire. Baamukubidde era bwe yatuuse n’akakasa ng’omulambo gwe gwa muto we.
Poliisi y’e Busunju yagguddewo fayiro nnamba CRB 286/2023, era okunoonyereza ne kutandikirawo. Omugenzi yaziikiddwa ku Ssande, mu ggombolola y’e Bisheshe, mu disitulikiti y’e Ibanda, wakati mu kwaziirana mu b’emikwano n’abooluganda.
Olwavudde mu kuziika, bba w’omugenzi n’abamu ku booluganda baakomyewo e Kanyogoga mu maka g’omugenzi.
Kyokka, ku Mmande ku makya, bba w’omugenzi yaviiridde balamu be mu mbeera olw’okumugamba abawe ku bintu by’omugenzi bw’atyo n’abakasukira engoye ze
oluvannyuma n’agula kkufulu empya ennyumba n’agisiba n’atambulan’agenda.