PHIONAH Kijambu 18, omutuuze w'e Balaholi mu Kamuli asobeddwa oluvannyuma lwa muwalawe Amaani Atwine ow’emyezi 11 okusangibwa n’ebituli bisatu ku mutima.
Agamba nti yafuna olubuto n’atuuka okuzaala omwana era n’amuzaala bulungi mu ddwaliro ly'omu Kisenyi e Kampala kyokka omwana yamusobera nga tasobola kussa bulungi.
Oluvannyuma lw’abasawo mu Kisenyi okumwekenneenya, baasalawo okumusindika e Mulago bongere okumwekebejja.
E Mulago omwana baamutwala mu sikaani era nga baatandikira ku bwongo okumwekebejja kyokka ne basanga nga tebulina buzibu.
Baasalawo okwekebejja amawuggwe nago ne gasangibwa nga tegalina buzibu bwonna.
Oluvannyuma abasawo baagenda ku mutima nga guno baagusangako ebituli bisatu.
Kijambu agamba nti baamutegeeza ng'ebituli ebibiri bwe bisobola okujjanjabibwa ne biziba kyokka nga ekirala eky’okusatu alina kutwaliba Buyindi alongoosebwe.
Agamba nti baamuwa eddagala n’atandika okuliwa omwana era yaddamu okukeberebwa nga ebituli ebibiri byaziba.
Agamba nti kati asigazza ekituli kimu nga balina mukulongoosa nga tannaba kusussa mwaka.
‘’Mu kiseera kino empapula zonna ezifuluma eggwanga nazikozeeko naye obuzibu bukyali bwa nsimbi 18,000,000/= ezaatusabibwa okumulongoosa e Buyindi,’’ Kijambu bw’ategezezza.
Asabye abazirakisa okumudduukirira nga bayita ku ssimu 0708164250 ne 0757987874.