Aba P7 ebibuuzo bya Bukedde bibongedde amaanyi

Oct 27, 2023

ABAYIZI ba P7 baakomekkerezza ebigezo bya Bukedde ebya wiiki esoose. Ebigezo bino byatandika ku Mmande n’ekigezo kya Mathematics nga byakomekkerezeddwaeggulo ( Lwakuna) n’ekigezo kya English, era ansa za English ziri mu Bukedde w’Olwokutaano.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAYIZI ba P7 baakomekkerezza ebigezo bya Bukedde ebya wiiki esoose. Ebigezo bino byatandika ku Mmande n’ekigezo kya Mathematics nga byakomekkerezeddwa
eggulo ( Lwakuna) n’ekigezo kya English, era ansa za English ziri mu Bukedde w’Olwokutaano.
Bruce Micheal Byaruhanga akulira okubunyisa amawulire ga Vision Group efulumya ne Bukedde yayongedde okukunga abazadde n’amasomero okujjumbira ebibuuzo bino kubanga bigendereddwaamu okutegeka abayizi nga beetegekera ebigezo bya PLE
ebyengedde.
Yagambye nti, ebigezo bino bikyagenda mu maaso era okutandika ne Mmande ejja nga October 30, 2023, ekigezo kya Mathematics kye kijja okufulumira mu katabo ka Bukedde, olwo ebirala bifulumizibwe okutuuka ku Lwokutaano. Yagasseeko nti, abasomesa abaakoze ebibuuzo bino ne ansa zaabyo bava mu masomero ag’amaanyi mu
Kampala, ekigenda okuwa abayizi ababikoze omukisa okufuna okulung’amizibwa kw’abakugu oba oli awo kwe bataandisobodde kufuna mu basomesa baabwe.
Mu mbeera eno Bukedde okusobozesa abazadde bonna n’amasomero okwenyigira mu
mukisa guno olupapula erulese ku 1,000/- zokka ate abaagala okugula mu bungi okugeza ban¬nabyabufuzi, amawulire gano gajja kutuusibwa mu bitundu byammwe nga temusasudde ntambula.
Amasomero ag’enjawulo gajjumbidde okugulira abayizi baabwe ebigezo bino. Ku ssomero lya Abusha e Bombo abasomesa baagulidde abayizi obutabo bwa Bukedde
omwafulumidde ebibuuzo bino ne babikola.
Medy Mwasse omusomesa ku ssomero lino yagambye ntiabayizi baabwe balina essuubi nti baakuyita ebigezo kuba abaana n’abazadde babakubirizza nnyo okugula amawulire ne bwe babeera bali waka ng’ ekigendererwa kyabwe kwekulaba nga omuyizi afuna amagezi mu basomesa ab’enjawulo okusinga okubeera ku musomesa omu. Abayizi b’essomero lya Iqra P/S nabo baakoze ebigezo bino ne beeyama okubiyitira waggulu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});