Abatabbuliiki batabukidde Mubajje lwakutunda bintu bya Busiraamu

ABATABBULIIKI basitukidde mu Mufti Shaban Mubajje olw’okutunda ebyobugagga by’Obusiraamu ne kiteeka n’omuzikiti omukulu mu ggwanga mu katyaabaga k’okutwalibwa.

Mufti Mubajje
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATABBULIIKI basitukidde mu Mufti Shaban Mubajje olw’okutunda ebyobugagga by’Obusiraamu ne kiteeka n’omuzikiti omukulu mu ggwanga mu katyaabaga k’okutwalibwa.
Basabye Gavumenti emukwate emuggalire kuba eky’okutwala ekitebe kya UMSC tebakyayinza kukigumiikiriza. Ssaabawandiisi wa Batabbuliiki b’e Nakasero, Hajji Siraje Kifampa yagambye nti we bituuse Mubajje n’eyali Ssaabawandiisi wa UMSC, Hajji Ramathan Mugalu balina okukwatibwa, balage gye bassa ssente ezaava mu ttaka lino.
“Mubajje alinga eyajja ne pulojekiti y’okutunda eby’obugagga by’Obusiraamu. Twamulabula nga yaakatunda ettaka ly’e Ssembabule nga bwe bijja okumwokya era ebiriwo alina okubisasulira,” Kifampa bwe yagambye. Kiddiridde omuwandiisi wa kkootiy’ebyobusuubuzi, Catherine Agwero, okuyisa ekiragiro ky’okubowa ebyobugagga bya UMSC olw’okulemwa okusasula omusuubuzi Justus Kyabahwa ssente obuwumbi 19, gwe baali baaguzizza ettaka lya mailo bbiri e Ssembabule. Ekimu ku ky’asinze okweraliikiriza Abasiraamu ky’ekitebe kya UMSC okuli omuzikiti amatiribona ogwa Gadaffi National Mosque ekiri mu lugendo.
EBYOBUGAGGA EBYALAGIDDWA OKUBOYEBWA KULIKO
Plot 30 ku William Street mu Kampala, plot 23-25 ku Old Kampala (okuli ekitebe kya UMSC), Kyaddondo Block 195 plot 5463, ettaka y’e Kyanja (kuliko apartments),
mailo y’ettaka esangibwa e Bukwe mu disitulikiti y’e Hoima ne yiika emu eri e Lumbas mu disitulikiti y’e Jinja. Poloti esangibwa mu City y’e Mbale, emigabo mu Uganda Ranchers Limited ne Commercial Holdings Limited abalina mailo z’ettaka ebbiri ezisangibwa e Migyera- Buluuli ne poloti eri e Ntebe okuliraana Victoria Mall.
Abasiraamu baayongedde okusattira, kkampuni ya bawannyondo eya Louiza Auctioneers and Court Bailiffs bwe yatadde ekirango mu mawulire ekiwa UMSC ennaku 30,okusasula ssente zonna ezibabanjibwa. Ennaku bwe ziggwaako
bajja kugenda mu maaso n’okutunda ebyobugagga ebyogerwako.

Hajji Abbas Kiyimba atuula ku lukiiko lwa UMSC okuva mu disitulikiti y’e Wakiso, Haji Huzairu Sendagire (Sheema) ne Hajji MusaMuhinda (omukiise w’e Lubaga) baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Akamwesi Gardens ku Gayaza Road ne bata akaka.
Baagambye nti bwe kituuse ku kwagala okutwala ekitebe ky’obusiraamu ekisangibwa ku Plot 23-25 ku Old Kampala tebakyayinza kukigumiikiriza. “Olwaleero nsaba Abasiraamu bonna abagwa mu biwayi ebyenjawulo, waaakiri kino kitugatte tusooke tugobe Mubajje ku bwa Mufti tuneetereeza oluvannyuma. Juma ya leero tuli baakugisaalira ku Old Kampala batunnyonnyole byonna,” Kiyimba bwe yagambye.
Jamil Katamba akolera ku William Street yagambye nti Juma ya leero Abasiraamu abaali basaalira mu muzikiti gwa Masjid Noor ogwaggalwa, mu December 2021
baakusalira wabweru waagwo.
UMSC KYEGAMBA
Omwogezi wa UMSC, Hajji Ashiraf Zziwa Muvawala yagambye nti si bamativu n’engeri omusango gye gukwattiddwaamu kuba tebassaayo kwewozaako kwabwe. Yagambye nti ebbanja eryogerwako tebalimanyi kuba ettaka eryogerwako
 yali lyawambibwa abantu mu 1979. Kyabahwa bwe yajja n’abakakasa nti asobola okulibaggyako ne bakola endagaano. Hajji Mugalu eyali Ssaabawandiisi wa UMSC we baatundira ettaka yategeezezza nti ssente ze baafuna baagulako apaatimenti e Kyanja, ebizimbe bibiri e Nyanama n’okuzimbako ekitebe ky’Obusiraamu e Ssembabule.
ENGERI GYE BY’AJJAMU
Obuzibu bw’atandika nga January 24, 2020, aba UMSC bwebaaguza Justus Kyabahwa ettaka  eriwerako mailo bbiri e Ssembabule erisangibwa ku LRV 3693 Folio 12
Ranch number 31A. Kyokka Albert Muganga n’avaayo ng’agamba nti yafuna dda liizi ku ttaka lino okuva u Ssembabule Muslim District Council nga ekyaliko. Muganga
yawawaabira Mufti Shaban Mubajje ne Hajji Ramathan Mugalu mu  kkooti enkulu e Masaka.
Mu nsala eyaweebwa nga December 24, 2022, omulamuzi Victoria Nakintu Katamba yalagira UMSC okukyusa ekyapa ky’ettaka lye Ssembabule balizze mu mannya
ga kkampuni ya Enterprise Uganda Limited eya Muganga. UMSC era yalagirwa okusasula obukadde 620 nga zirimu amagoba ga bitundu 24 ku 100 buli mwaka okuva mu 2017 lwe baali baatunda ettaka lye. Omulamuzi okusalawo kyaddirira
Mugalu okukkiriza nga bwe baali baaweebwa obukadde 280 okuva mu Enterprise Uganda Limited nga za liizi, kyokka mu kiseera kye kimu ne baliguza Kyabahwa. Ensala y’omulamuzi Nakintu ye yawaliriza Kyabahwa okwekubira enduulu mu kkooti y’ebyobusuubuzi ng’ayagala UMSC emuliyirire obuwumbi 18.9 nga zino yali abaliddeko amagoba. , omuwendo gw’ettaka, okufiirizibwa, okumenya endagaano n’ensonga endala. Ettaka yali yaligula obuwumbi busatu n’obukadde 500. Ettaka eryogerwako erya Ssembabule eyali Pulezidenti wa Uganda Idd Amin ye yaliwa UMSC mu 1974. Okusooka lyali limanyiddwa nga Mawogola Ranch nga lisangibwa Bukiragi-Ntuusi-Lwemiyaga.