Alimu amannya ga Bannayuganda be baakwatidde ku kyeyo ne tukulaga n'amakomera amakambwe gye babasibidde n'ebibavunaaniddwa.
Balooya Abasiraamu batutte Mubajje mu kkooti gye bamuwawaabidde aggyibwe ku Bwamufuti.
Tukulaze ebiri emabega w'omuliro ogwayokezza ekizimbe kya City House.
Mulimu omusajja abadde yeefuula omulalu poliisi gw'ekutte ng'alina amasasi g'emmundu n'essimu ey'omulembe gy'abadde akozesa okukuba ebifaananyi nga bw'abiweereza mu babaaya.
Ssenga wa Bukedde akunnyonnyola ebireetera abakazi okucuuma mu mbugo ne bw'osobola okuvvuunuka ekizibu kino. Tukugattiddeko abanoonya abaagalwa omuko mulamba ne Sandra ku basajja abatabukira mu kisenge.
Mu Byemizannyo: ManU eri wazibu, Bayern bwe yeesomye okugiggya mu mpaka za Champions league.
Gano n'amalala mu Bukedde w'Olwokubiri agula 1,000/- zokka.