Abawanguzi ba 2023 beesunga kugenda Budaaki
Dec 18, 2023
KU Lwokuna lwa wiiki ewedde, abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 13 baalangiriddwa okwegatta ku balala 92 abawangudde empaka zino okuva mu 2014 lwe zaatongozebwa.

NewVision Reporter
@NewVision
KU Lwokuna lwa wiiki ewedde, abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 13 baalangiriddwa okwegatta ku balala 92 abawangudde empaka zino okuva mu 2014 lwe zaatongozebwa.
Ku bawanguzi 13, abawanguzi 10 baalondeddwa okwetooloola eggwanga, ate abasatu ne balondebwa ku mutendera gw’enjawulo ogw’abavubuka. Abawanguzi 10 baakugabana obukadde 150 ng’asinze aganda kutwala obukadde 50, owookubiri 30 ate owookusatu atwale obukadde 20, olwo abalala omusanvu bagabane obukadde 50 nga zibaweebwa mu bikozesebwa naddala tekinologiya wa ffaamu.
Martin Kananura ye yasinze banne, Henry Sight Lugoloobi n’akwata ekyokubiri, Ruta Sebastian Ngambwa n’akwata ekyokusatu. Abawanguzi abalala kuliko; Agnes Akello, Patrick Kyakulaga, Simon Amajuru Madraru, Paul Owor, Fiona Birungi Acayo, Bosco Otto, Phoebe Kusiima Kagambe. Ku mutendera ogw’enjawulo ogw’abavubuka: Dr. Pamella Bakkabulindi, Mahawiyah Mukasa, Solomon Moses Odong be bawangudde.
Mu ngeri y’emu Denis Kabiito asiimiddwa okusomesa abalimi abalala naddala abavubuka, essomero lya Iganga SSS ne lisiimibwa okutendeka abayizi okulima n’okulunda okuli n’abazibe b’amaaso ate Gayaza SSS n’esiimibwa okutegeka ekisaakaate ky’obulimi n’obulunzi buli mwaka.
Empaka zino zitegekebwa kkampuni ya Vision Group nga zissibwaamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM Royal Dutch Airlines ne Koudijs BV.
Abawanguzi ba 2023 beesunga kugenda Budaaki
1 MARTIN KANANURA
Oluvannyuma lw’emyaka 37 ng’asomesa, mu 2020, Kananura yawummula omulimu gw’ennoni n’asalawo okuddira ddala mu kulunda. Yakozesa ssente ze yalina okuzimba ffaamu ye gye yatuuma Rwenjeru Agro-Tourism Demonstration and Training Farm gye yali yatandika mu 1994 ku ttaka lye yasikira ku bazadde be kyokka n’asigala ng’ayongera okugula eddala nga leero alina yiika 200 e Rwenjeru, Mbarara.
Ffaamu eriko ente 200, yiika z’olusuku 40, embuzi ezisoba mu 150 ate n’endiga 50. Alina n’obumyu obusoba mu 200 emizinga gy’enjuki kw’ossa okulunda ebyennyanja era afukirira, akola emmere y’ebisolo, kw’ossa okugatta omutindo ku by’akungula.
Polof. Ogenga Latigo, omu ku balamuzi agamba nti, Kananura ekyamuwanguzza kwe kubeera nti, alina ebintu by’akola eby’enjawulo ebiyamba ekitundu ky’abeeramu.
Ababiri bano tebalootangako kubeera balunzi ba byennyanja2 HENRY SIGHT LUGOLOOBI:
Ffaamu ye eyitibwa Sight Farm leero etudde ku yiika kkumi 25 e Namulonge mu disitulikiti y’e Wakiso okuliraana ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku bulimi n’obulunzi mu ggwanga ekya Uganda Agricultural Research Organization (NARO), yatandikira Luwafu-Kizungu mu munisipaali y’e Makindye mu Kampala mu 2000 ku poloti ya ffuuti 30 ku 30.
Lugoloobi yatandika n’ennyana emu ng’agirundira mu kiyumba ng’alinawo n’enkoko z’amagi 200. Olw’obufunda bw’ekifo, yali asobola kulunda ente bbiri zokka nga kino kyamuwaliriza okutakula omutwe n’afuna ettaka e Namulungo nga leero ffaamu etudde ku yiika ezisoba mu 25.
Yagenda ayongerako ebirala okwali okulunda enkoko z’ennyama 20,000, embizzi ate n’ente z’amata 35. Emyaka esatu egiyise, yasalawo essira okulissa ku nte z’amata era n’atandika n’okuzirimira omuddo okukakasa nti, zirya bulungi.
Mu ngeri y’emu yakizuula nti, okufuna mu ffaamu alina okwekwataganyiza olulyo lw’ente z’alunda kuba wano asobola bulungi okumanya amaanyi n’obunafu bwazo ne kimusobozesa okukola okusalawo okutuufu ku kiddako nga kati alina enteekateeka y’okuzaazisa ente ze okwataganya olulyo.
Kati alina ebika by’ente okuli; Holstein Friesians ne Jersey era nga yazizimbira ennyumba ey’omulembe okukakasa nti, zibeera nzikakkamu ekiseera kyonna nga we ziwummulira assaawo ebisusunku by’omuceere okukola nga ekiwempe.
3 RUTA SEBASTIAN NGAMBWA YATEMBEEYANGA AMATA NG’ASOMA KU YUNIVASITE
Bw’osisinkana Ruta Sebastian Ngambwa, oyinza okuwakana nti, mulimi olw’endabika ye. Anti bangi balowooza nti, omulimi abeera mucaafu ng’ajjudde ettaka ate nga musiiwuufu, naye ono oyinza okulowooza nti, ava mu ofiisi.
Wabula bw’atandika okwogera ku bulunzi bw’ente lw’omanya nti, obwedda oli na mulunzi. Ye dayirekita wa Prime Agro Uganda Limited e Ziroobwe mu disitulikiti y’e Luweero.
Ffaamu ye etudde ku yiika 300 ng’alina ente 250 ekika kya Friesian and Jersey n’olusuku lw’amatooke. Ng’alina ebyuma okuli; tulakita ezikabala n’ezisiga, ezikola sayiregi, ebyuma ebisala omuddo, ebisaawa, ebifuuyira, emmotoka ezeetikka n’ezitambuza eby’amaguzi kw’ossa ebikama ate n’ebinnyogoza amata.
Ngambwa yatambuzanga amata bwe yali ku yunivasite e Makerere, mu bitundu ebyetooloddewo okuli; Kigoowa, Ntinda mu Kampala. Bwe yamaliriza okutikkirwa, yakolako ne kkampuni y’eddagala kyokka ng’ebirowoozo byonna byali ku kulima na kulunda.
Mu 2004, yasalawo okutandika okulunda enkoko ku yiika emu kyokka era yali ayagala kulunda nte engeri gyekiri nti, ssente yaziggyanga mu mata n’ente mu kyalo e Ntungamo. Oluvannyuma
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi Maj. Gen. David Kyomukama (ku kkono) ng’akwasa Martin Kananura (amuddiridde) eyasinze mu mpaka z’Omulimi Asinga ceeke ya bukadde 50, ng’ali wamu ne Charles Muduwa akulira dfcu (ku ddyo).
Dr Karin Boven, omubaka wa Budaaki mu Uganda ng’akwasa Henry Lugoloobi (mu katono bw’alabika) ne ffamire ye, cceeke ey’obukadde 30.
Dr Karin Boven (ku kkono), ng’akwasa Ruta Sabastian Ngambwa ekirabo ky’okuwangula empaka z’Omulimi Asinga 2023.
yagula yiika 25 e Ziroobwe mu Luweero kwe yatandikira okulunda ente nga yatandika nga ffaamu ya kuyigiriza balala ng’eyitibwa Zirobwe Demonstration Farm.
Mu 2008 yatandikawo Prime Agro Farms Uganda Limited nga bisinensi ya ffamire gy’agenze okuzimba nga kati yatandika n’okugatta omutindo ku mata ng’akolamu omuzigo
Dr Pamella Bakkabulindi alimira mu biyumba
Ono mulimi ku kyalo Kaganja- Nakifuma n’e Kabembe ng’alima obutunda, omuceere, emboga ate n’okulimira mu biyumba mw’alimira kaamulali wa kyenvu n’omumyuufu ssaako obutiko. Bakkabulindi yazaalibwa mu maka nga balima n’okulunda okutali kwa bizinensi wabula ng’akimanyi nti, mirimu egisobola okuyimirizaawo omuntu kuba mwe mwavanga fi izi ezaamusomesa okufuuka
omusawo w’abantu.
Ng’amalirizza okusoma yakozesa ettaka lya ffamire n’alimira mu kiyumba ku, ssente ze yatereka ku musaala nga kyali ffuuti 8 ku 30 mu 2018.
Yasimba kaamulali owa kyenvu n’omumyuufu kuba alina akatale era amukoledde kuba leero alina ebiyumba 3 nga ebibiri yabikozesa miti na biveera n’akatimba
ng’akolerera ebiyumba 20.
Mu 2020 yagula yiika z’ettaka bbiri e Kaganja-Nakifuma kw’alimira obutunda n’ebirime ebirala. Mu kiseera kino alina yiika 15 mu bifo eby’enjawulo kw’alimira obutunda, emiti gy’ebibala, emboga, omuceere n’ebirala.
Dr Pamella Bakkabulindi ne munne nga basanyukira ekirabo kye yawangudde.
MAHAWIYAH MUKASA YAVA KU KYEYO N’ATANDIKA OBULIMI
Ono ye nnannyini Kapeeka Agro andLivestock Farm kw’alimira ngabo y’enkalo, ebibala ebirala ng’emiyembe, okulunda obumyu n’embuzi.
Mukasa yali ku kyeyo e Dubai mu 2010 ng’akola ku kisaawe ky’ennyonyi. Wabula mu 2017, ng’ayita mu kibiina ekigatta Bannayuganda mu mawanga ga Buwalabu ekya Association of Ugandans in the UAE, yeetaba mu misomo n’emyoleso by’obulimi n’obulunzi egy’amuzibula amaaso n’afuna ekirowoozo ky’okulima.
Bwe baali e Mecca ku Hijja, yasisinkana Hajji Musitfa owa Musubi Farm abalima ovakkedo wa Hass ne bamulaga ebirungi by’okulima ovakkedo ono naye n’asalawo okudda atandike okumulima.
Yadda n’agula yiika 100 e Kapeeka okulima ovakkedo kyokka yawabulwa nti, yali tasobola kudda mu kifo kino olw’embeera y’olukoola. Yayongera okugenda mu misomo mu mawanga ag’enjawulo gye yayigira ebintu ebirala naddala engabo y’ekyalo.
Mu kiseera kino alina yiika 370 kw’alimira emiyembe ku yiika 50, emicungwa yiika 22, ennaanansi yiika 20 n’engabo y’enkyalo yiika emu kw’ossa okulunda embuzi n’obumyu.
Halima Mukasa mukyala wa Mahawiyah Mukasa n’ekirabo kye baawangudde.
Oluvannyuma lw’okutikkirwa diguli y’endabirira y’ebisolo ku Busitema yunivasite -Arapai Campus, yafunirawo omulimu n’ekitongole ekimanyiddwa nga DRC ekikolera mu disitulikiti y’a Adjumani. Nga wayiseewo ebbanga ttono, yatandika okulunda enkoko okwongereza ku nnyingiza afune ssente z’okulabirira ffamire ye mu 2018 era ffaamu n’agituuma Quality York Farm nga leero etudde ku yiika bbiri era yonna] yagisibako n’akatimba ng’akuηηaanya ttule 95 buli lunaku. Ono alina abakozi bataano ab’enkalakkalira nga buli mwezi omusawo alina okukyala ku ffaamu okukebera ku nkoko.
Mu ngeri y’emu ffaamu yakuuma katale eri abatuuze abalima kasooli, soya n’ebitungotungo by’akozesa okukola emmere. Abalamuzi baategeezezza nti, ono yawangudde kuba bw’ogeraageranya n’abalunzi abalala mu kitundu kye, ategeera bulungi obulunzi bw’enkoko n’akatale ke ate nga yeenyigiramu
Charles Muduwa, akulira dfcu ng’akwasa Agnes Akello ekirabo ky’obuwanguzi.
SIMON AMAJURU MADRARU WA NKOKO
Mu 2016, Amajuru yatandikaokulunda enkoko z’ennyama nga yatandika n’enkoko 200
ezaamumalako 600,000/- n’azitunda ku wiiki mukaaga nga zaali zizitowa kkiro bbiri n’ekitundu.
Ono y’addukanya kkampuni ya bbaasi eya Zawadi Bus services yatandika MASO Poultry Limited e Lalopi Cesia cell, Laropi Ward mu kibuga kya Adjumani, nga leero alinako enkoko 3,600 eziri ku bukulu obw’enjawulo kuba buli mwezi ayingiza n’asobola okutunda enkoko 800 omwezi nga buli emu ya 20,000/-. Agamba nti, ekimu ku bimuyambye okwezimba kwe kussa ssente mu kutendekebwa ate n’okufuna abakugu
okusobola okukola buli kimu ku ngeri y’ekikugu
Lukia Otema owa KLM mu Uganda ng’akwasa Simon Amajuru ekirabo.
Emyoleso gya Vision Group ginsomesezza- Paul Owor
Obutasubwa mwoleso gwa Harvest Money kiyambye Owor okufuuka kafulu
mu bulunzi bw’ente.
Ng’oggyeeko okwetaba mu mwoleso mw’azze asomera ebintu ebitali bimu, yayongerako okukyalira abalunzi abalala gy’agenze ayigira enzirukanya ya ffaamu ey’ekikugu.
Olw’okuba ente z’olulyo naddala okuva ku ffaamu ez’amaanyi za buseere nga zigula wakati w’obukadde 8-10, Owor agula nnyana nto kuba ffaamu zino era zisobola okutunda ennyana z’ennaku 7-14. Ku ffaamu ye esangibwa ku kyalo Lwala mu ggombolola y’e Siwa mu disitulikiti y’e Tororo kuliko ente kkumi ez’ebika eby’enjawulo okuli Holstein Friesian, jersey, boran, guernsey, sahiwal ne
short horn zebu. Augustine Mwendya agamba nti wadde Awor alina omulimu omulala, afi ssa obudde bwa ffaamu ye, akuuma ebitabo, ategeera eby’olulyo ateng’alabika asoma okumanya ky’ateekeddwa okukola
SOLOMON MOSES ODONG
Ku myaka 32, Odong omu ku balimi b’omuwemba abeekoledde erinnya mu disitulikiti y’e Bukedea. Alina yiika 25 ez’omuwemba ku kyalo Tibile mu ggombolola y’e Kangole ng’akolagana ne kkampuni ya Uganda Breweries Ltd. Mu sizino eno asuubira okukungula ttani 12 nga gano amakungula gagenda kuba gakubya mu gawedde kumpi emirundi ebiri kuba enkuba ebadde nnungi ate nga yajjira mu budde.
Ng’abalimi b’omuwemba, okusoomoozebwa kwe basinga okusisinkana kwa bunyonyi bwe bagamba nti, tebukyatya bukookolo nga balina okussaamu ssente
okusobola okubugoba nga basasula abafuuyi b’eηηombe obutafi irizibwa. Augustine Mwendya omu ku balamuzi agamba nti, Odong alaga nti, mu bulimi mulimu ssente.
Neol Crombach owa Koudijs ng’akwasa Solomon Moses Odong ekirabo ky’obuwanguzi.
Patrick Kyakulaga yawangudde
Wadde nga yakoma mu P.2 okusoma, Kyakulaga yasigala mumalirivu okunoonya engeri gy’asobola okweggya mu bwavu obalemesa bazadde be okumusasulira fi izi asobole okumalako okusoma kwe.
Yatandika okulima nga leero alina yiika 20 kw’alimira mu ngeri y’omulembe ku kyalo Buwongo mu ggombolola ya Nakalama mu disitulikiti y’e Iganga kw’alina ekibira kya kalittunsi ne payini ku yiika 8, ente z’amata, embuzi n’enkoko nga ffaamu agiyita Gajoc Investments Limited ng’ettaka eddene yaligula mu 2015 okuva mu ssente ze yali aterese okuva mu by’alunda.
Fu 1
Fiona Birungi Acayo ne bba Fred Felix Owilo balunda byennyanja
wabula mu 2019 bwe baali bazimba ennyumba yaabwe ku kyalo Amuca mu disitulikiti y’e Lira, baasalawo okwekubira bbulooka okukendeeza ku nsaasaanya. Ekitundu kyali kiriraanye olutobazzi era Owilo n’ateesa balundiremu ebyennyanja.
Acayo nga looya mutendeke, yakkiriziganya ne bba ne batandika n’obwennyanja 350 bwe baagula ku 70,000/- okuva ku Lira Integrated School Fish Farm ebyakola obulungi ne basikirizibwa okwongerako ebidiba ebirala bisatu mu 2020, mu
2021 baayongerako ebidiba 11 ate mu 2022 baayongeddeko ebirala mukaaga okuweza ebidiba 21 mwe balundira engege n’emmale.
Ffaamu yaabwe baagituuma Dewilos Fish Farm nga Acayo ye dayirekita. Mu kusooka emmere yaabyo baagiggyanga Kampala nga bakozesa nsawo 30 omwezi nga buli nsawo ya kkiro 60 egula 120,000/- ekyali eky’obuseere okutuusa lwe baatandika okwekolera emmere yaabwe.
Victoria Ssekitoleko akulira akakiiko k’abasazi b’empaka zino agamba nti, bw’olaba engeri ababiri bano gye baddukanyamu ffaamu yaabwe olaba okwagala ate n’amaanyi agali mu kukolera awamu nga ffamire okutuuka ku nkulaakulana n’okugenda mu maaso
.
No Comment