Amawulire

Ebyabaddewo ng'omukuumi akuba omuntu amasasi e Ssenyi

Poliisi y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi aba kkampuni ya Atlas esangibwa ku kyalo Ssenyi Ddegeya mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono ababadde bataamye obugo,oluvanyuma lwa asikaali owa kkampuni ya corporate security company okukuba omu ku bakozi ababadde bakola mu kkamouni eno amasasi agamutiddewo.

Abantu nga bali awabadde ettemu
By: Joanita Nakatte, Journalist @New Vision

Poliisi y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi aba kkampuni ya Atlas esangibwa ku kyalo Ssenyi Ddegeya mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono ababadde bataamye obugo,oluvanyuma lwa asikaali owa kkampuni ya corporate security company okukuba omu ku bakozi ababadde bakola mu kkamouni eno amasasi agamutiddewo.

Atiddwa ye Ochen Joseph abadde omutuuze ku kyalo kya Kkolo abadde yakamalawo ebanga lya myezi mukaaga nga bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Embeera eno eviiriddeko abakozi n’abatuuze okwaagala okwegugunga ne baagala okwokya kampuni wabula poliisi n’ekakkanya embeera.

Okusinziira ku bamu ku bakozi abakola mu kkampuni eno banyonyodde ng’omukuumi bw’asoose okulumiriza omugenzi nga bw’abadde abbye emisumaali esatu n’agikweeka mu ngoye kyokka ng’ono bwaamwazizza n’atamusanga nagyo, atandise okumubuuza akana n’akataano gy’abadde agikweese era nga wano olutalo we lutandikidde.

Rashid Muwanga omukozi mu kkampuni eno ategeezezza nga munaabwe bw’agezezaako okwerwanako oluvanyuma lw’omukuumi ono okutandika okumukuba ng’amubanja emisumaali asikaali n’agalula emundu, essi erimu ne limukuba mu lubuto ate eddala ne limukwaasa mu kugulu.

Emmotoka ya Poliisi ng'ezze awabadde ettemu

Emmotoka ya Poliisi ng'ezze awabadde ettemu

Abakulembeze ne poliisi oluvanyuma bakubye olukiiko mu bakozi bano ne babatottolera ebizibu bye bayitamu, nga bwe bakolera ku bugubi omuli abakuumi bano okubatiisatiisa nga buli kaseera okubakuba amasasi ssinga babeera balina ensobi gye bakoze, okubawa omusaala omutono n’abamu okubakubirayo ne batasasulwa, obutabawa kya kulya n’okusomoozebwa okulala okw’enjawulo.

Bano era bategeezezza ng’era abakuumi bano bwe babaggalira ebweru ne babalemesa okuyingira olw’obutakwata budde kyokka nga gye basula wala nnyo okutuuka ku kkampuni eno we bakolera ate ng’abamu batambuza na bigere.

Kkansala Ddembe naye yeemulugunyizza olw’enfunda eziwera ze bazze baagala okutuukirira ba yinvesita abavunaanyizibwa ku kkampuni eno okunyonyolwa ku ngeri gye batulugunyaamu abakozi kyokka ne balemesebwa.

Abagumizza era n’abasuubiza okubayamba okulaba ng’alondoola ensonga eno okutereeza mu mbeera abakozi naddala ab’amakampuni gye bakoleramu etali nnungi,era nga ye omukuumi akyakuumibwa ku poliisi e Seeta.

Bbo ba yinvesita ba nnanyini kkampuni eno bagaanye okubaako ne kye boogera ku nsonga eno.

Tags: