POLIISI n’amagye okuva e Katooke - Nabweru bataasizza omusawo w’ekinnansi abatuuze gwe babadde bagajambula ku bigambibwa nti abadde n’akawanga k’omuntu mu ssabo lye.
Ssaalongo Siraje Kayizzi, akuumibwa ku poliisi e Katooke oluvannyuma lw’okutaasibwa ku batuuze.
Okukwatibwa kyaddiridde ekikwekweto ekyakoleddwa ab’ekitongole kya Uganda n’eddagala lyayo nga baakulembeddwaamu omwogezi waabwe Godfrey Bahaingana Kayizzi mu kaweefube w’okufuuza abasawo b’ekinnansi abafere.
Bahaingana yategeezezza nga bwe bakizudde nti Ssaalongo Kayizzi alina ebisigalira by’abafu mu ssabo lye wabula bwe baatuuseewo n’agezaako okudduka era abatuuze baamugobye okutuusa bwe baamukutte.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Kayizzi akuumibwa ku poliisi nga bwe banoonyereza okuzuulira ddala ekituufu.