Abatuuze ku kyalo Abutataro ekiri mu muluka gw’e Alemere, mu ggombolola y’e Agwingiri mu disitulikiti ye Amolator, baaguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’omukazi Milly Acen, okuva mu buntu n’atema bba Denis Obua, 44, olubale ku mutwe ng’amulanga butamugulira nnyama ku kulisimaasi.

Ekiwundu Ekiri Ku Mutwe Gwe Baatemye. Wano Baabadde Bamutwala Mu Ddwaaliro.
Okunoonyereza kwa poliisi kwalaze nti, Obua aliko omukazi omupya eyategeerekese nga Christine Aguti gwe yabadde agulidde kkiro bbiri ez’ennyama era nga kye kyaggye mukyala we Acen mu mbeera n’amusanjaga ejjambiya.